TOP

Gwe baakutte ng'amenya edduuka alula

Added 30th November 2020

ABASUUBUZI bataayizza omuvubuka ali mu kibinja ky'ababbi ababbira mu nkuba ekiro n'ayogera obukodyo bwe bakozesa okumenya amadduuka mu Kawempe. Shafik Mawanda ow'omu Kisenyi Zooni e Kawempe yakwatiddwa ekiro ku ssaawa 11:00 n'ebintu ebigambibwa okuba ebibbe mu dduuka erimu mu katale ka Bivamuntuuyo.

Shafik Mawanda eyakwatiddwa.

Shafik Mawanda eyakwatiddwa.

ABASUUBUZI bataayizza omuvubuka ali  mu kibinja ky'ababbi ababbira mu nkuba ekiro  n'ayogera obukodyo bwe bakozesa okumenya amadduuka mu Kawempe. Shafik Mawanda ow'omu Kisenyi Zooni e Kawempe yakwatiddwa ekiro ku ssaawa 11:00 n'ebintu ebigambibwa okuba ebibbe mu dduuka erimu mu katale ka Bivamuntuuyo. 

Abasuubuzi abasula mu butale baamugobye ne bamukwatira mu katale ka Kajjubi  ne bbokisi ya ssabbuuni n'ekiddomola kya Butto. Mawanda baamusibye emiguwa n'okumukuba n'ayogera n'ekibinja ky'abba nakyo ng'enkuba etonnya. Ku luno baabadde 7 kyokka banne olwalabye nga bamukutte ne bamuddukako.

Yagambye nti balina ebyuma bye bakozesa okumenya  nga basooka kulambula mu kitundu we bagenda emisana.  Yagasseeko nti oluusi bannannyini madduuka babaggulako emikwano ne balaba engeri gye bakolamu.

"Kituufu mu nkutte n'ebizibiti nsaba munsonyiwe mbabuulire be nzibba nabo. Tusinga kubba kiro ng'enkuba etonnya  ng'okusinga tumennya madduuka g'omu butale ssinga otusanga tusoboola okukukolako" Mawanda bwe yategeezezza.

  Sulaiman Kigongo akulira olukiiko  lwa Trade Order olufuga abasuubuzi ne bannannyini butale yategeezezza nti  Mawanda alina ekibinja ky'abavubuka okuva ku myaka 13 okudda waggulu abagenda mu butale ne bamenya amadduka g'abasuubuzi ne banyaga .

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Mmotoka ya minisita Atwoki eyakubiddwa amasasi.

Minisita asimattuse amasasi

Minisita omubeezi avunaanyizibwa ku byenfuna mu offiisi y'omumyuka wa Pulezidenti, Dr Baltazar Kasirivu-Atwooki,...

Kiddu (ku kkono) ne munne.

Bannabyamizannyo abattiddwa...

Nga December 30 omwaka oguwedde, abantu abatamanyiddwa baasindiridde Isaac 'Zebra' Senyange, eyaliko kapiteeni...

Sserunjogi ng’alaga ebintu by’atonaatona omuli essaati, ebikopo n’ebirala ebikozesebwa mu kunoonya obululu okusikiriza abalonzi.

Sserunjogi kkampeyini aziko...

AWAGWA ekku tewabula kalondererwa, ekiseera kya kkampeyini bangi bakikozesezza okuyiiya ssente era gubeera mugano...

Ssentebe Andrew Kasatiiro ng'agezaako okunnyonnyola abaatafunye butimba.

Ab'e Jinja Kalooli batabuki...

Abatuuze b'e Jinja Kalooli mu Wakiso beeweereza ebisongovu n'abakulembeze baabwe lwa butabawa butimba bwa nsiri....

Kasibante ku mpingu  ng'akwatiddwa.

Agambibwa okugezaako okufum...

OMUSUUBUZI   aloopye omuvubuka ku poliisi n'amulumiriza  okumuggyiraayo ekiso amufumite abaduukirize ne bamutaasa....