TOP

Ebizuuse ku muvubuka eyattiddwa abaamagye

Added 1st December 2020

Fatumah Nangonzi, nnamwandu wa Ssekyanzi ne mulekwa.

Fatumah Nangonzi, nnamwandu wa Ssekyanzi ne mulekwa.

Omuvubuka amagye gwe gasse e Katwe mu kwekalakaasa yava Gomba. Kyokka famire ye erumiriza nti okufa kwe tekulina kakwate na bya kukuba baserikale mayinja. Wadde ng'abamu ku batuuze bagamba nti tebamugaanira ku bya kukola ffujjo kubanga bulijjo aliko y'ensonga lwaki yakazibwako lya Mubanda w'e Gomba.

Ssekyanzi eyattiddwa.

Vincent Ssekyanzi 23, Pulezidenti Museveni yamwogeddeko ng'eyattibwa abaserikale bwe baali balawuna e Katwe n'abalumba n'abakuba amayinja. Kwe kumukuba amasasi ne bamuttirawo. Bukedde yagenze e Katwe ne tuzuula nga Ssekyanzi yattibwa.

Kyokka teyattibwa nga November 21 nga Pulezidenti bwe yagambye. Yattibwa Lwakusatu nga November 18, ku lunaku lwe waaliwo okwekalakaasa oluvannyuma lwa poliisi okukwata Bobi Wine e Luuka mu Busoga. Yava Gomba n'ajja e Katwe ewa kojjaawe Ahmed Nsubuga alina edduuka e Katwe-Kinyoro. Wano w'akulidde.

Omudaala gwa Ssekyanzi kw'abadde asiikira capati.

Y'omu ku bavubuka abaaganyulwa mu ssente ezassibwawo Museveni okuyamba abavubuka. Ssente yazikozesa okutandika bizinensi ya capati e Katwe mu Katenda Zooni. Bizinensi ebadde egaziye n'atandika omudaala omulala mu katale e Katwe nga nagwo gwa capati. Abadde apangisa mu Katenda Zooni.

Mukyala we ye Fatuma Nangonzi 19, alina omwana wa myezi munaana. Pulezidenti yategeezezza nti yakubye abaserikale amayinja. Ate omu ku beebyokwerinda yategeezezza nti okumukuba amasasi yali akulembedde banne nga bagenda kwokya poliisi y'e Katwe mu katale.

Nangonzi (mukyala w'omugenzi) agamba: ebyogerwa abeebyokwerinda bulimba bwennyini. Ekisooka yattiddwa ku Lwakusatu nga November 18. Lwe baamusse, yabadde yaakava awaka ku ssaawa nga 8:00 ez'olweggulo. Waayisseewo akaseera katono mikwano gye bba ne bamubikira nga bamukubye amasasi.

Agamba: Yavudde awaka ng'agenze kulaba "baana" abali ku muddaala mu katale kubanga bapya tebamanyi kitundu ate amasasi gaabadde gavuga nnyo. Yabadde ne munne Musa Magumba naye essasi lyamukubye engalo. Nga tebannava waka ne Musa baasoose kukubira bakozi ku muddaala kyokka nga tebakwata ssimu. Bwe baatuuse e Katwe ku ttaawo nga bava ku ludda lw'e Katwe-Kinyoro, baabadde basala oluguudo lwa Queen's Way okugenda mu katale awo we baamukubidde.

Magumba agamba: Nnalabye munnange bamukubye amasasi, ne nziruka. Nnamuwulidde ng'alaajana nti banzise. Ne nkomawo. Nnagezezzaako okumuyamba nange essasi ne linkuba engalo. Ne nziruka okuddayo nnasibidde mu kalwaliro. Kojja w'omugenzi, Ahmed Nsubuga: Yambuulidde ng'ava awaka. N'agenda ku muddaala gwa capati mu katale e Katwe.

Waayiseewo essaawa emu ne nfuna amawulire g'okumutta. Twagenze okuggyawo omulambo, poliisi n'etugaana. Oluvannyuma poliisi yaleese kabangali yaayo ne bassaako omulambo, naffe ne tulinnya okutuuka mu ggwanika e Mulago. Oluvannyuma baatuwadde omulambo ne tumuziika e Nakaye mu Bulo-Butambala.

Akulidde wange mu Kinyoro. Kyokka abamu ku ba LC baagambye Ssekyanzi ali mu bbiina ly'abavubuka abakola effujjo. Lwe baamutta baakung'aanya amayinja ne basalako Queen's way. Baagezaako okuggyako omuserikale emmundu. Bagattako nti abaserikale baali bangi mu kitundu nga tekyali kyangu kwokya poliisi nga bwe bigambibwa. Era abaserikale ssinga baali baagala kyali kisoboka okumukwata ne batamutta. Kirabika baalina obusungu.

Kansala Deo Kasana akiikirira Katwe ll: abaakubye amasasi tebaabadde bakugu. Amagye agaabadde mu kitundu tewali ngeri muntu gy'agakuba Mayinja. Era omuntu bw'akukuba amayinja ng'omukugu lwaki omukuba masasi emisana ttuku? Lwaki tokozesa bukugu n'omukwata?

Yagambye: Ssekyanzi abadde azannya omupiira mu kika ky'Ente. Yasoma okwetandikirawo emirimu mu nteekateeka ya Museveni okuyamba abavubuka. Bwe baamuwa essigiri ne by'akozesa okuli eng'aano ne butto bye yatandikirako. Abadde atandise omudaala ogw'okubiri. Abadde muwagizi wa Bobi Wine. Emidaala gye abadde yagitimba ebifaananyi bya Kyagulanyi.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Mmotoka ya minisita Atwoki eyakubiddwa amasasi.

Minisita asimattuse amasasi

Minisita omubeezi avunaanyizibwa ku byenfuna mu offiisi y'omumyuka wa Pulezidenti, Dr Baltazar Kasirivu-Atwooki,...

Kiddu (ku kkono) ne munne.

Bannabyamizannyo abattiddwa...

Nga December 30 omwaka oguwedde, abantu abatamanyiddwa baasindiridde Isaac 'Zebra' Senyange, eyaliko kapiteeni...

Sserunjogi ng’alaga ebintu by’atonaatona omuli essaati, ebikopo n’ebirala ebikozesebwa mu kunoonya obululu okusikiriza abalonzi.

Sserunjogi kkampeyini aziko...

AWAGWA ekku tewabula kalondererwa, ekiseera kya kkampeyini bangi bakikozesezza okuyiiya ssente era gubeera mugano...

Ssentebe Andrew Kasatiiro ng'agezaako okunnyonnyola abaatafunye butimba.

Ab'e Jinja Kalooli batabuki...

Abatuuze b'e Jinja Kalooli mu Wakiso beeweereza ebisongovu n'abakulembeze baabwe lwa butabawa butimba bwa nsiri....

Kasibante ku mpingu  ng'akwatiddwa.

Agambibwa okugezaako okufum...

OMUSUUBUZI   aloopye omuvubuka ku poliisi n'amulumiriza  okumuggyiraayo ekiso amufumite abaduukirize ne bamutaasa....