TOP

Museveni yeeweredde abasaanyawo entobazzi

Added 1st December 2020

Museveni ng'awuubira ku bawagizi be nga yakatuuka e Busitema.

Museveni ng'awuubira ku bawagizi be nga yakatuuka e Busitema.

PULEZIDENTI Museveni yeeweredde okufaafaagana n'abantu abasaanyawo n'okuzimba mu ntobazzi be yagambye nti boonoona obutonde.

Pulezidenti okwogera bino yabadde ku Yunivasite y'e Busitema mu disitulikiti y'e Pallisa bwe yakubye olukung'aana lwa kampeyini olwetabiddwaamu abakulembeze okuva mu distulikiti y'e Budaka, Kibuku, Butebo n'e Pallisa nga bano baamuloopedde aba NEMA abayitirizza okuyigganya abalimira omuceere mu ntobazzi nga ne gye buvuddeko omuceere gwabwe gwonna baagusaawa.

Museveni yagambye nti abantu abalima omuceere mu ntobazzi mu disitulikiti y'e Pallisa bakikola mu bukyamu kyokka bateekeddwa okusooka okuliyirirwa nga tebannagobwa olw'ensonga nti okulima omuceere mu ntobazzi baakikoppa ku Bachina ab'omuceere gwa Kibimba.

Yawadde abalimi amagezi nti kisoboka okusigala nga balimira mu ntobazzi naye mu ngeri eyookwegendereza etali ya kwonoona butonde bwa nsi. Omubaka omukazi owa disitulikiti y'e Kibuku, Jennifer Namuyangu yategeezezza nti ebitundu 70 ku 100 mu disitulikiti y'e Pallisa bya ntobazzi y'ensonga lwaki si kya bwenkanya aba NEMA okugobaganya abalimirayo omuceere kuba babeera baagala kubeezaawo famire zaabwe .

Pulezidenti yannonnyodde ensonga ez'omuzinzi 13 abakulembeze ba NRM ze bateekeddwa okunnyonnyola abalonzi nga babasaba akalulu n'ensonga lwaki basaanidde okumwongera ekisanja ku Bwapulezidenti. Ezimu ku nsonga zino kuliko; Obutebenkevu, okulwanyisa obwavu, okulima ebintu eby'okuggyamu ssente n'enkulaakulana.

Abakulembeze n'abantu ba bulijjo mu bitundu bya Bukedi eby'omu mambuka baakakasizza nga bwe bagenda okulonda Museveni mu kalulu ka 2021 olw'enkulaakulana ey'omuggundu gy'aleese mu kitundu kyabwe. Bw'otuuka mu disitulikiti ye Pallisa tolemwa kusiima olw'enguudo ezikoleddwa obulungi nga ziyiiriddwa koolaasi era nga ne mu bitundu ebimu omulimu gw'okukola enguudo gukyagenda mu maaso.

Ssentebe wa disitulikiti y'e Pallisa, John Micheal Okurut yategeezezza nti ezimu ku nguudo ezikoleddwa kuliko; olwa Pallisa - Kumi, Pallisa - Kamonkoli, Pallisa -Tirinyi wamu n'olutindo olugatta Pallisa ku Ngora nga kino kibayambye mu kulongoosa ebyentambula n'okusikiriza abasuubuzi mu kitundu kino.

Omubaka wa Kibuku County, Herbert Kinobere yategeezezza ng'amazzi amayonjo mu bitundu bye Bukedi bwe geeyongedde nga kati gali ku bitundu 76 ku 100 era disitulikiti eno y'emu kw'ezo ezaaganyulwa mu buwumbi 20 obwaweebwayo Gavumenti okwongera okutuusa amazzi amayonjo mu bantu.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Maj.Bilal Katamba

Bannakampala mukomewo mukol...

AMAGYE gagumizza abantu abakolera mu Kampala nti tewali ajja kutabangula mirembe wadde bizinensi zaabwe noolwekyo...

Maama Kisanja (wakati) ne banne.

Maama Kisanja yawangudde ek...

OKULONDA omukadde agenda okukiikirira abakadde mu lukiiko lw'eggwanga olukulu kuwedde e Luweero era nga Maama Kisanja...

Nancy Kalembe omukazi yekka eyeesimbewo ku bwapulezidenti.

'Sikkaanya na byavudde mu k...

EYABADDE avuganya ku bwa pulezidenti Nancy Linda Kalembe agambye nti si mumativu n'ebyo akakiiko k'ebyokulonda...

Senyomo

Ono akalulu akanoonyeza nju...

Deus Senyomo eyeesimbyewo ku bwannamunigina okuvuganya ku kifo kya kansala mu KCCA ( LC V) mu miruka gya;  Lubaga...

Abamu ku b’eng’anda z’abaafudde nga baaziirana.

Omusajja asse omukazi n'aba...

DOREEN Namutebi 32, afudde alaajana mu muliro ogumusse n'abaana bana e Katooke-Nansana. Moses Ssebadduka nga ye...