
Ekibuga ky’e Mukono nga kikwatiridde ttiyaggaasi.
ROBERT Kyagulanyi Ssentamu yatandikidde mu maanyi ng'anoonya akalulu mu ssaza ly'e Kyaggwe. Eggulo mu lukuhhaana lwe yakubye e Buikwe, abakulembeze baayo baamubuulidde bye baagala abakolereko singa ayitamu ku bwa pulezidenti bwa Uganda.

Wabula olukuhhaana lwe olwasembyeyo e Mukono lwaggweeredde mu ttiyaggasi nga poliisi egumbulula abantu abaabadde bakuhhaanye. Kyagulanyi yasimbudde wuwe e Magere n'ayitira e Gayaza, Nakifuma we yayogeredde mu lukungaana olwasoose.

Yeeyongeddeyo e Buikwe n'afundikirira e Mukono wabula yabadde agenda okwogera, poliisi n'ewandagaza obukebe bwa ttiyaggaasi ekitundu kyokka ne kikwata enkoomi y'omukka abantu ne babuna emiwabo. Bino byagenze okugwawo ng'abakulembeze aboogedde ne Bukedde bategeezezza nti baagala atereeze eby'obulamu, okwongeza abasomesa omusaala, okuzimba amatendekero g'ebyemikono n'enguudo embi.
Jamadah Kajoba omumyuka wa Meeya w'e Mukono yasabye nti Kyagulanyi atandikire ku kuzimba amalwaliro mu byalo e Mukono. Kuno ayongerezeeko okutereeza ebyobulimi kubanga y'enkizi ya Uganda. Ayagala ayongeze abasomesa omusaala olwo awe abantu ddemokulasiya omutuufu basobole okwetaaya.

Ye Robert Ssozi kansala akiikirira omuluka gw'e Nantabuulirirwa ku disitulikiti e Mukono, ayagala ebyemikono bissibweko essira, abalongooseze enguudo embi ezireeta akalippagano k'ebidduka agatteko okulondoola emirimu egikolebwa mu bitongole bya Gavumenti.
Johnbosco Wamala omumyuka wa ssentebe w'omuluka gwa Nantabulirwa e Mukono ayagala afunire abavubuka emirimu kubanga bangi basomye naye tebalina kyakukola. Olwo ayongereko okutaasa abatulugunyizibwa ku nnyanja. Augustine Romeo kkansala akiikirira Nsuube ne Kawuga ayagala alwanyise ekibbattaka, azze n'ebyenjigiriza engulu.

Yahaya Bakka muvuzi wa bodaboda e Njeru ayagala Kyagulanyi alwanirire abavubuka abaana abakola mu makolero okufuna ku ssente ezitegeerekeka. Ate Moses Ssemanda omutuuze ku kyalo Nava ayagala enguudo zaabwe bazikube kkolaasi.
Moses Lukanga ayagala abatereereze ebyobulimi n'obulunzi, ate Gideon Kiyimba omutuuze w'e Najja ayagala Kyagulanyi abawonye ettemu lyoku nnyanja erikolebwa abaserikale ba UPDF.
EBYABADDE E MUKONO Prado UAR 689H eyabadde etambuliramu abawagizi ba Kyagulanyi yagudde e Naggojje abaabaddemu ne balumizibwa. Omu ku baabadde batambulira mu mmotoka eno ye Margaret Ssimbwa mukyala wa Paul Ssimbwa avuganya ku kifo ky'Omubaka wa Nakifuma mu palamenti ng'ali ku kkaadi ya NUP.

Abalala ababaddemu ye; Kaggwa Ssimbwa, Drake Ssentongo Abadallah Kiwanuka Mulimamayuuni yagambye nti poliisi ekola kikyamu okulondoola Kyagulanyi atalina musango. Mu kifo kye kimu, Jonathan Sempala ow'e Nakifuma yafudde baakamutuusa mu ddwaaliro e Kawolo oluvannyuma lw'okufuna akabenje bwe yabadde ava e Nakifuma ng'egenda e Lugazi.