
Muntu ng'ayogera n'abantu ku Bayita Ababiri.
MAJ. Gen Mugisha Muntu eyeesimbyewo ku bwapulezidenti ku kaadi y'ekibiina kya Alliance for National Transformation asanze akaseera akazibu okutuuka mu bifo ebimu e Ntebe, poliisi bw'emusuulidde emisanvu e Katabi n'emulagira okugenda mu kisaawe w'abadde alina okukuba olukung'aana.
Poliisi emutegeezeeza nti talina budde era nti alina okukyusa asobole okutuuka mu bifo ebirala nga ebimu ku bifo by'agaaniddwa okutuukamu kuliiko Nakiwogo, Lugonjo, Kigungu n'awalala. Bawalirizza abawagizi b'ekibiina kya ANT n'abakulembeze baayo okuva ku luguudo mwasanjala ne bayitira mu byalo okuli Kabale, Bunono, Katabi, Kitubulu, era ebitundu ebisinga gye yabadde ategese nga e Kigungu, Nakiwogo n'awalala teyatuuseeyo.
Ng'ayogerako eri abawagizi be ku kisaawe ky'omupiira e Katabi, Muntu yennyamidde olw'embeera abeebyokwerinda gye baamuyisizzaamu n'okumulemesa okutuuka gye yabadde yategese yonna. Yagambye nti bino babisuubira kubanga gavumenti teyagala batuuke ku bantu bonna ky'eva eteekawo emiziziko.
Muntu yagambye nti pulezidenti Museveni alina okumanya nti talina kintu kipya ky'agamba bantu ate nga by'akoze nabo basobola okubikola ate n'okumusinga noolwekyo akkirize enkyukakyuka mu ggwanga ate nga ya mirembe awatali kuyiwa musaayi kubanga emyaka 35 mingi, abantu bakooye.
Muntu yabadde n'abamu ku beesimbyewo ku bifo ebyenjawulo mu Wakiso okwabadde Wilberfoce Sseryazi akwatidde ANT bendera ku kifo kyomubaka w'ekibuga Ntebe n'abalala. Bano baategeezezza nga bwe bagenda okukola ekisoboka okuwangula akalulu ku bifo ebisoba mu 24 kw'ebyo 56 ebyesimbwako mu Ntebe era nti bakkiriza nti obudde bwa Museveni buweddeko era agenda.