TOP

Ebyavudde mu kukebera Lukwago

Added 1st December 2020

Loodi Meeya Lukwago.

Loodi Meeya Lukwago.

LIPOOTA y'abasawo ku byavudde mu kukebera Loodi meeya Erias Lukwago efulumye.
Lukwago yakebeddwa mu ddwaaliro lya Aga Khan e Nairobi gye yatwaliddwa ku Ssande ya November 22.
Baamuzuddemu obulwadde bw'emisuwa egitwala omusaayi mu mawuggwe obwa ‘lung parenchymal/ pulmonary vascular dysfunction'. Busobola okukwata omuntu yenna naye tebusiigibwa. Busobola okujjanjabibwa era baatandise dda okumujjanjaba mu Nairobi Hospital.
Ttiimu y'abakugu bataano, baasazeewo nti Lukwago tagenda kulongoosebwa. Bagenda kukozesa eddagala ery'amaanyi okuzibukula n'okutereeza emisuwa egibadde givaako okulemererwa okussa obulungi n'aziyira. Kyokka era Lukwago yasangiddwa n'ekizibu ky'okukaluubirirwa okussa. Mu lulimi lw'ekisawo babuyita ‘forced spirometry'. Ekirala afuna enkyukakyuka mu bungi bw'omusaayi mu mawuggwe.
Abasawo baagambye nti embeera zonsatule zisobola okujjanjabibwa. Dr. Hassan Ssozi omukugu akolera mu ddwaaliro ekkulu e Mulago yalambuludde lipoota eno n'agamba emisuwa egitwala omusaayi mu mawuggwe gibadde tegikola bulungi. Egimu gyafunda ekivaako okukaluubirirwa okuyingiza n'okufulumya empewo ng'assa.
Yagambye nti emisuwa gino bwe girwala, omuntu ataataaganyizibwa nnyo embeera erimu omukka omubi okugeza ogwa mmotoka n'ebika by'omukka ebitali birungi. Yategeezezza nti omulwadde afuna embeera y'obulwadde buno aziyira, okunafuwa omubiri n'aggwaamu amaanyi n'okufuna kantoolooze asobola n'okumuviirako okugwa. Kyokka obulwadde bulina eddagala era bujjanjabibwa ne buwona.
Lukwago yayogedde ne Bukedde n'agamba nti ekibadde kimutawaanya butamanya kibadde kimuviirako kulemererwa kussa naye ng'abasawo bwe bakizudde kati agenda kutereera. Lukwago awezezza wiiki nnamba e Nairobi. Kyokka okugenda yasooka kukeberwa corona nga tamulina. Yali awezezza emyezi esatu ng'embeera ye mbi nnyo era baamuwa ekitanda e Lubaga.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ssaabasumba Kizito Lwanga (ku ddyo) Omusumba Kakooza ne Ssekamanya ( ku kkono) nga baganzika ekimuli ku kifaananyi  ky'omugenzi mu Lutikko e Lubaga.

Paapa akungubagidde Omusumb...

PAAPA Francis akungubagidde Bishop John Baptist Kaggwa n'amwogerako nga munnaddiini abadde tasangika. Paapa yagambye...

Tumukunde (ku ddyo) ng’agezaako okuyita ku baserikale. Oluvannyuma baamugaAnye okweyongerayo ewa Kyagulanyi.

Tumukunde bamugobye ewa Bob...

EGGULO ku Lwokutaano, Omubaka Robert Kyagulanyi Sentamu yabadde ategese okwogera eri eggwanga. Naye ng'ebyo tebinnabaawo,...

Titus Ssematimba eyateebedde Buddu (mu ddyo) ng’atwala omupiira ku muzannyi wa Bulemeezi.

Abaamasaza batolotoomye lwa...

Fayinolo y'Amasaza Gomba - Buddu Egyazannyiddwa ku semi; Busiro 0(4)-0(5) Gomba Bulemeezi 0-1 Buddu OBWAKABAKA...

Bobosi omuzannyi w'omupiira.

'Kye kiseera okwesiga Bobos...

"EKYASINZE okunsanyusa kwe kulaba nga mutabani wange Bobosi Byaruhanga ali ku katebe ka ttiimu y'eggwanga ey'abakulu....

Omusumba Joseph Tumusiime owa The heaven's gate Church of All Nations

Wuuno nnabbi eyalagula Trum...

Omusumba owa The heaven's gate Church of All Nationa avuddeyo n'akakasa okulagula kwe ku eyabadde omukulembeze...