TOP

Engeri Mossad gye yasse munnassaayansi wa Iran

Added 1st December 2020

Emmotoka mwe baamuttidde.

Emmotoka mwe baamuttidde.

THERAN, Iran

AMASANNYALAZE gaavuddeko ekitundu kyonna omulundi gumu. Ekyaddiridde kwabadde kubwatuka kwa kintu ekyakanze abatuuze ne beeyokya amayumba. Baagene okufuluma ng'abakessi ba Yisirayiri batemudde munnassaayansi wa Iran ow'ebyafaayo. Olukwe lwapangiddwa ekitongole kya Mossad ekikettera Yisirayiri.

Mohsen

Lwatabudde abagezi ba Iran, kuba okuvaako kw'amasannyalaze kwasannyalazza ebyuma ebikessi olwo bbomu eyategeddwa ku kkubo n'esesebbula konvoyi munnassaayansi mwe yabadde ne bongera n'okugisasiramu amasasi agaamusse n'abakuumi be.

Eyattiddwa ye Mohsen Fakhrizadeh abadde kafulu mu ssaayansi akola bbomu n'ebyokulwanyisa eby'omutawaana naddala ebikozesa amaanyi ga nukiriya, Iran gw'ebadde esibiddeko olukoba mu kubiweesa okwetangira Yisirayiri, Amerika n'amawanga ga Bulaaya agakolagana nago.

Abakessi 12 baava mu Yisirayiri mu bubba ne batendekebwa mu Iran mu kabuga Absard akaliraanye ekibuga ekikulu Tehran nga Gavumenti ya Iran tetegedde. Kwabaddeko bakafulu mu ssabbaawa babiri (snipers) n'abalala 10 abaabadde mu mupango gw'okukasuka bbomu n'ebissi ebirala nga batambulira mu mmotoka ez'enjawulo.

Abatemu abalala 50, baabadde beesudde akabanga n'obutemu we bwabadde butegekeddwa okukolebwa nga bali bulindaala okutaasa bannaabwe 10 singa eggye lya Iran linaaba libasazeeko nga bamaze okukola obutemu. Abatemu baasimbye mmotoka emu ey'ekika kya Hyundai Santa Fe eyabaddemu abatujju bana abaabadde beefudde abasaabaze ng'emmotoka eri ng'ebafiiriddeko ku kkubo.

Olwo baabadde bamaze okupima Mohsen nti agenda mu maka ge ag'omu kyalo era mu ddakiika 30, yabadde atuuse we baamuteegedde ne bakasuka bbomu mu luseregende lwa mmotoka ze ennya nga zonna teziyitamu masasi. Bbomu zaawunzizza emmotoka mwe yabadde ne yeefuula ate abatemu ne batandika okuzikubamu amasasi g'emmundu za ‘machine guns' ez'amaanyi.

Zeggudde enzigi ne bamuggyamu ne bamumaliriza n'abakuumi be bonna. Okusinziira ku mukutu gwa yintanenti ogwa Sepah Cybery ogukolagana n'eggye lya Iran erya Islamic Revolutionary Guards Corps, bino byamaze akabanga katono abaakikoze nga beeyongeddwaako bannaabwe abaabadde ku kabangali n'ebulawo era bakyanoonyezebwa.

Mohsen mu Iran yakazibwako lya taata waffe mu bya bbomu (father of Iran's bomb program) olw'ebyafaayo bya bbomu ez'omutawaana z'azze aweesa ne banne ekizze kitabula eggwanga eryo n'ekibiina ky'Amawanga Amagatte ne balissaako ne natti z'ebyenfuna lirekere awo okuziweesa.

Wakati wa 2010 ne 2015, Mohsen yatabula Amerika olw'obungi n'amaanyi ga bbomu ze yali aweesa ne banne mu nkukutu ekyawaliriza eyali Pulezidenti, Barack Obama okutta omukago ne Iran nga yeeyungiddwaako amawanga ga Bulaaya ne basaba Iran erekere awo okuziweesa bazzeewo enkolagana.

Eby'embi, Donald Trump eyajja mu buyinza nga yeeweze okuggyawo ebintu ebimu Obama bye yakola, mu May wa 2018, yaggyawo endagaano eyo eyali etuumiddwa Joint Comprehensive Plan of Action (JCPOA) ng'agamba nti Iran yali ebatimba bbula ng'egenda mu maaso n'okukola ebyokulwanyisa ate nga kw'egasse n'okufuna obuyambi okuva mu Amerika.

Endagaano bwe yavaawo olwo Mohsen n'addamu buto okuweesa nga tewali amukuba ku mukono. Nga bavudde mu ndagaano, ekitongole ky'Abamerika ekiketta ebweru waayo ekya (Central Intelligence Agency (CIA) kyakwatagana n'ekya Mossad ne baluka olukwe olumaze emyaka ebiri okutemula munnassaayansi ono.

Tageti yabadde ya kumutta nga Trump tannava mu ntebe nga January 20, 2020 Joe Biden eyamuwangula mu kalulu lw'agenda okulayira wadde nga yagaana okukkiriza ebyava mu kulonda. Omukulembeze wa Iran ow'oku ntikko, Ayatollah Ali Khamenei yalayidde nga bw'agenda okwesasuliza ku buli ggwanga eryenyigidde mu lukwe luno.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Mmotoka ya minisita Atwoki eyakubiddwa amasasi.

Minisita asimattuse amasasi

Minisita omubeezi avunaanyizibwa ku byenfuna mu offiisi y'omumyuka wa Pulezidenti, Dr Baltazar Kasirivu-Atwooki,...

Kiddu (ku kkono) ne munne.

Bannabyamizannyo abattiddwa...

Nga December 30 omwaka oguwedde, abantu abatamanyiddwa baasindiridde Isaac 'Zebra' Senyange, eyaliko kapiteeni...

Sserunjogi ng’alaga ebintu by’atonaatona omuli essaati, ebikopo n’ebirala ebikozesebwa mu kunoonya obululu okusikiriza abalonzi.

Sserunjogi kkampeyini aziko...

AWAGWA ekku tewabula kalondererwa, ekiseera kya kkampeyini bangi bakikozesezza okuyiiya ssente era gubeera mugano...

Ssentebe Andrew Kasatiiro ng'agezaako okunnyonnyola abaatafunye butimba.

Ab'e Jinja Kalooli batabuki...

Abatuuze b'e Jinja Kalooli mu Wakiso beeweereza ebisongovu n'abakulembeze baabwe lwa butabawa butimba bwa nsiri....

Kasibante ku mpingu  ng'akwatiddwa.

Agambibwa okugezaako okufum...

OMUSUUBUZI   aloopye omuvubuka ku poliisi n'amulumiriza  okumuggyiraayo ekiso amufumite abaduukirize ne bamutaasa....