TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Obulwadde bwa siriimu bweyongedde mu bawala abato

Obulwadde bwa siriimu bweyongedde mu bawala abato

Added 1st December 2020

OBULWADDE bwa kawuka mukenenya  bweyongedde nnyo mu kiseera kino ekye kirwadde kya Ssenyiga  omukambwe era kati abaana abawala abali abato 500 bebakafuna buli wiiki.

Bwabade e Ntinda Keneth Mwehonge  okuva mu kitongole kya Coalition for Health Promotion and Social Development (HEPS Uganda)  agambye nti ensonga eno evudde ku bavubuka  kati ebetaba mu bikolwa byokwegata nga  tebayise mu nkola yokuziyiza obulwadde bwa Mukenenya,

Ayongeddeko nti okusobola  okumalawo obulwadde buno Bannayuganda balina okufuba okulaba nga beyambisa enkola zona ezaaletebwa okuziyiza mukenenya  omuli  okukozesa Condom wamu nakaweta n'enkola endala ezaleetebwa.

Era agamba nti singa omuntu agenda neyekebeza mangu n'azuulibwa ng'akawuka mukenya akalina ayinza okutandika  mu bwangu  okunywa eddagala lya ARVS nga lino lisanyalaza akawuka  ka siriimu  ng'omuntu tasobola kukasasanya.

Shakirah Namwanje okuva mu Uganda Network of AIDS service Organisation (UNASO) agamba nti gavumenti ereme kwerabira byekoze okulwanyisa mukenenya  nga amanyi egassa ku senyiga wa Corona bwetyo erina okufuba  okulaba ng'esembeza  kumpi byona  byebanonyerezaako mu kulwanyisa mukenya nga muno mulimu kondomu obuweta n'ebintu ebirala .

Moses Nsubuga Supercharger okuva mu JABASA agamba nti  abantu balina okwongera  okubasomesa  kungeri gye bayinza okwewalamu mukenenya  n'agamba waliwo gavumenti ebintu byetaddewo  okulwanyisa mukenenya naye tebasikiriziddwa bantu  kubyetanira.

Agambye nti abantu betaaga okwongera okusomesebwa ebikwata ku mukenenya beggyemu endowoza etali ntuufu ekwata ku ngeri yokuziyizaamu mukenya naddala Condom

Yasabye ne gavumenti okutekawo ensawo ya AIDs Trust Fund   nga mawanga agamu mu Africa baleme kuwesigama nnyo ku sente eziva wabweru we Gwanga okulwanyisa mukenenya kubanga  abagabi b'obuymbi bayinza okwekuba.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Mmotoka ya minisita Atwoki eyakubiddwa amasasi.

Minisita asimattuse amasasi

Minisita omubeezi avunaanyizibwa ku byenfuna mu offiisi y'omumyuka wa Pulezidenti, Dr Baltazar Kasirivu-Atwooki,...

Kiddu (ku kkono) ne munne.

Bannabyamizannyo abattiddwa...

Nga December 30 omwaka oguwedde, abantu abatamanyiddwa baasindiridde Isaac 'Zebra' Senyange, eyaliko kapiteeni...

Sserunjogi ng’alaga ebintu by’atonaatona omuli essaati, ebikopo n’ebirala ebikozesebwa mu kunoonya obululu okusikiriza abalonzi.

Sserunjogi kkampeyini aziko...

AWAGWA ekku tewabula kalondererwa, ekiseera kya kkampeyini bangi bakikozesezza okuyiiya ssente era gubeera mugano...

Ssentebe Andrew Kasatiiro ng'agezaako okunnyonnyola abaatafunye butimba.

Ab'e Jinja Kalooli batabuki...

Abatuuze b'e Jinja Kalooli mu Wakiso beeweereza ebisongovu n'abakulembeze baabwe lwa butabawa butimba bwa nsiri....

Kasibante ku mpingu  ng'akwatiddwa.

Agambibwa okugezaako okufum...

OMUSUUBUZI   aloopye omuvubuka ku poliisi n'amulumiriza  okumuggyiraayo ekiso amufumite abaduukirize ne bamutaasa....