TOP

Faaza afiiridde mu buliri

Added 1st December 2020

Omugenzi Faaza Katoogo.

Omugenzi Faaza Katoogo.

ABAKRISTU b'e Kyotera baguddemu encukwe, Faaza abadde ajjanjaba mukulu we bw'asangiddwa ng'afiiridde mu buliri mu nnyumba y'Abasesedooti ku Lutikko e Kitovu e Masaka! Fr. Joachim Katoogo 70, y'omu ku Basesedooti ababadde abaggundiivu mu Ssaza ly'e Masaka gy'abadde amaze emyaka 45.

Faaza Katoogo yajaguzza emyaka 45 mu Busesedooti nga August 17, 2020 ng'omukolo gwali ku kyalo ewaabwe e Kisunku. Y'abadde ajjanjaba mukulu we, Rev. Fr. Denis Mayanja 85, nga naye ali mu mbeera mbi mu ddwaaliro ekkulu e Masaka era omugenzi gye yavudde mu ddwaaliro akawungeezi k'oku Ssande awummulemu kuba yabadde atawaanyizibwa puleesa ne Ssukaali.

Faaza Katoogo yavudde Mutukula gy'abadde akolera obuweereza okugenda okutwala mukulu we Faaza Mayanja mu ddwaaliro ng'ono abadde abeera mu Rest House e Kitovu. Yavudde mu ddwaaliro ku Ssande nga teyeewulira bulungi n'asalawo asooke yeebake addeyo mu ddwaaliro ku makya alabe ku mulwadde ate naye akeberweko ku puleesa.

Faaza Sekiwunga gwe yasuze asabye amutwaleko mu ddwaaliro, ye yabadde amukimye, n'amusanga nga yafudde dda! Omugenzi Faaza Katoogo ne Mukulu we Faaza Denis Mayanja gw'abadde ajjanjaba baazaalibwa abagenzi Pio Kaggwa ne Gertrude Nalubega abaali ab'oku kyalo Kisunku.

Omu ku baffamire ye eyali Pookino Vincent Ssebbowa Mayiga yategeezezza nti ekyalo Kisunku kifiiridwa omusajja abadde ayagala ekitundu kye kw'ossa okuyamba ne ku bizibu ku kyalo. "Tuzaalibwa wamu era tukuze wamu. Faaza Katoogo Katonda yamuwa ekirabo kyamagezi, abadde mukozi nnyo era ku kyalo kuno y'asinzaako eddundiro ly'embizzi ery'amaanyi.

Aweeredde abaana ku kitundu bangi, yali musomesa ku seminaliyo e Bukalasa ate era ye yasooka okuzimba ebizimbe ebyasooka ku ssomero lya Gavumenti erya Kisunku P/S," Pookino Mayiga bwe yagasseeko. Omugenzi era abadde munnamawulire omutendeke.

Akulira ebyamawulire mu Ssaza Katolika e Masaka, Fr. Ronald Mayanja yategezeezza nti omugenzi waakuziikibwa leero ku Lwokubiri ku limbo ya Bafaaza ku Seminaliyo e Bukalasa mu Kalungu.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Minisita Kuteesa

Minisita Sam Kuteesa ayanju...

MINISITA w'enkolagana y'amawanga g'ebweru, Sam Kahamba Kuteesa ayanjudde lipooti ku bwegugungo obwaliwo nga November...

Myeyu asibiddwa emyaka ena.

Eyakwatibwa n'ebyambalo by'...

SSENTEBE wa kkooti y'amagye e Makindye, Lt. Gen. Andrew Gutti asibye omusajja emyaka ena mu kkomera e Kitalya lwa...

Bakiraaka ba kkooti nga bambadde yunifoomu.

Baleese yunifoomu z'abakozi...

Kaweefube w'okulwanyisa obuli bw'enguzi, essiga eddamuzi limukwasizza maanyi bwe litongoza  yunifoomu  egenda okwambalibwa...

Minisita Sarah Opendi ng'ayogera.

Atalina lukusa lwa kusima m...

Gavumenti ng'eyita mu Minisitule y'ebyobugagga eby'omu ttaka ereese ebbago ly'etteeka erinaalung'amya bonna abasima...

Aba Yellow Power, wakati ye Mandera Jjumba addiriddwa Gerald Kasagga (ku ddyo)  nga bali mu lukungaana lwa bannamawulire.

Aba Yellow Power beemulugun...

ABAVUBUKA b'ekisinde kya Yellow Power  mu kibiina kya NRM,  bavuddeyo ne bakukkulumira bakama baabwe obutafaayo...