TOP

Omuyizi wa MUBS aleese 'Champion Bea''

Added 1st December 2020

Neilah Asiimwe n'omuvubuka gwe yabadde naye mu vidiyo.

Neilah Asiimwe n'omuvubuka gwe yabadde naye mu vidiyo.

Mwana muwala Neliah Kansiime eyakamaliriza emisomo gye ku yunivasite ya MUBS e Nakawa wadde y'omu ku bakoseddwa omuggalo gwa ssennyiga omukambwe, agaanyi okulera engalo.

Neilah mu laavu n'omuntu we.

Akwataganye ne NYK Promotions n'asalawo okuyita mu kuyimba okusomesa Bannayuganda n'okubawa essanyu. W'osomera bino ng'aleese oluyimba lwatuumye ‘'Champion Bea'' ng'awaana omulenzi we. Agamba nti omulenzi we ono bw'abulawo akaaba n'abulwa n'emirembe kubanga buli kiseera gwalowoozaako.

Amusabye nti bw'aba yeefudde atamuliiko tanyiiga akyali wuwe era tagezaako okumukyawa kubanga agezezzaako okufuna engeri gyabivaamu naye alemeddwa. Yategeezezza nti omukwano gw'alina tegukola magezi nga ggaayi ono taliiwo.

Neilah ne ggaayi we nga beewaamu.

Oluyimba luno ‘'Champion Bea'' alugasse ku ‘'Akalulu'' lwe yasooka okukuba ng'adda mu luyimba lwa Jose Chameleone ‘Dunia etumaliramu bwereere.' Alwongeddemu ebirungo ng'akubiriza abantu akalulu obutabamalaamu kubanga kanyuma waliwo emirembe. Akubiriza abalonzi nti bwe kaba kalulu basituke bagende balonde nga tebeesosola mu langi, amawanga n'okwewalana ng'ate tewali atulugunya munne wadde okukuba abantu kibooko n'amasasi.

Neilah Asiimwe mu vidiyo ye 'Champion Bea'.

Agamba nti omukka tussa gwa bwereere ate n'eno Duniya tugivaamu bwereere era etumaliramu bwereere bw'atyo n'awa abalonzi ne be balonda okuwang'ana ekitiibwa n'okukuuma emirembe. Yategeezezza nti buli muntu alina gwawagira tewali nsonga lwaki omukaka okuwagira by'atayagala.

Neliah abeera Kibuli ne bakadde be ng'okuyimba yakutandikira ku Buganda Road Primary School gye yava okwegatta ku Nile High School e Mukono. Yayimbako ne Sheebah Karungi wamu ne Bebe Cool ng'agatta amaloboozi mu nnyimba zaabwe.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

okulonda e Lwengo tekujjumb...

OKULONDA mu bitundu bye Lwengo kubadde kw'abitege nga ebifo ebironderwamu abalondesa babadde bakonkomalidde mu...

ANATALIA Ozze yennyamidde o...

ANNET Nambooze amanyiddwa nga Annatalia Oze olumaze okusuula akalulu ke n'ategeeza abantu nga bwagenda okubakulembera...

Mayiga ng'ayogera.

Abantu okulonda Bobi Wine m...

KATIKKIRO wa Buganda, Charles Peter Mayiga agambye nti ennonda abantu ba Buganda gye baalonzeemu mu kalulu k’Obwapulezidenti...

Ffeffekka Sserubogo

Okulonda ssentebe e Kayunga...

OKULONDA Ssentebe wa disitulikiti ne bakansala b'e Kayunga kutandise kikeerezi olw'abalonzi okulwawo okugenda mu...

Ffeffekka Sserubogo ng'akuba akalulu.

Ab'e Kayunga tebajjumbidde ...

OKULONDA Ssentebe wa disitulikiti ne Bakansala b'e Kayunga kutandise kikeerezi olw'abalonzi okulwawo okugenda mu...