TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Abaguza abantu amazzi nga bagayita butto babakutte

Abaguza abantu amazzi nga bagayita butto babakutte

Added 1st December 2020

Ayo n'abavubuka be yakutte nga bafera abantu.

Ayo n'abavubuka be yakutte nga bafera abantu.

ABAVUBUKA abaguza abantu amazzi nga bagayita butto mu bulippagano bw'ebidduka mu Kawempe n'ebitundu ebiriraanyewo poliisi ebakutte. Abaakwatiddwa kuliko: Charles Katongole eyagambye nti atunda nsawo ne Ayub Tamale 20 omutuuze w'omu Kibe zooni abalala ne badduka.

Amazzi ge baguza abantu nga bagayita butto.

Omanyi ennaku zino ku nguudo ezisinga kuliko abatembeeyi  abatunda ebintu eby'enjawulo omubadde n'abavubuka  abateeka amazzi mu buddomoola ne bagaguzza abantu nga bagayita butto. Isaac Ayo akulira poliisi y'e Kawempe yategeezezza nti abantu bazze batwala okwemulugunya ku poliisi z'omu Kawempe ku batembeeyi ababafera. 

Kino kyawalirizza Isaac Ayo ne basajja be okulondoola abavubuka bano ne babakwatira mu Kibe zooni gye baakwatidde Charles Katongole ne Ayub Tamale abalala ne badduka.

Juma Muwonge omu ku baagula amazzi gano agambye nti yali mu mmotoka  mu jjaamu ku Kaleerwe omuvubuka n'ajja n'obudomola bwa Butto obwa liita 10 ng'abutunda 15,000/-. Yagulako bubiri kyokka yamala kutuuka waka okutegeera nti mazzi.

Katongole ne Tamale omusango baagukkirizza nga bagamba nti embeera y'ebbula ly'emirimu eri mu ggwanga yebatuusizza ku mbeera y'okweyiiya kyokka ne bagamba nti we baabakwatidde nga bino baabivaamu dda lwakuba ku luno baabasanze we bakolera amazzi gano. 

Isaac Ayo  akulira poliisi y'oku Kaleerwe  yagambye nti okusinziira ku bujulizi bwe balina ku bakwate bagenda kutwalibwa mu kkooti. Yagasseeko nti baakwatiddwa ne ggaamu gwe bakozesa okusiba obudomola nga kino bakikolera ku nguudo ez'enjawulo ezibeerako jjaamu.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Bakaluba Mukasa.

NUP ewangudde disitulikiti ...

EKIBIINA kya National Unity Platform (NUP) kyeyongedde okweriisa enkuuli mu kulonda kwa bassentebe ba disitulikiti...

Magogo (ku ddyo) ne Mbidde ku mukolo ogumu.

Magogo okusigala mu ntebe y...

PULEZIDENTI wa FUFA, Moses Magogo oluvannyuma lw'okuwangula akalulu k'omubaka wa Palamenti (Budiope East), asaanye...

Abazannyi ba Rugby Cranes, nga beeriga ne ttiimu ya Zimbabwe e Lugogo.

Aba rugby beesika emiwula l...

Bya SILVANO KIBUUKA Rugby Cranes etandise kaweeefube w'okulaba nga Uganda evuganya mu mizannyo gya Olympics omulundi...

Omuddo gwa Kafumbe nga bwe gufaanana.

Omuddo gwa kafumbe gugoba o...

ABAANA bwe bagenda bakula ne baweza emyaka nga 13 bafuna olusu abangi lwe bamanyi nga kaabuvubuka. Omwana ne bw'aba...

Omusumba Kisitu.

Omusumba w'Abasodookisi any...

Mu bantu abatenda ssennyiga omukambwe mwe muli Omusumba w'Abasodookisi Silvestros Kisitu atwala kitundu ky'e Gulu...