TOP

Ababbi bafumise abantu ebiso e Kyotera

Added 2nd December 2020

POLIISI n’abeebyokwerinda abalala e Kyotera ne Kaliisizo banoonyereza ku bumenyi bw’amateeka obukudde ejjembe mu Kyotera omuli okutemula abantu abava mu nnimiro ne bababbako ebintu byabwe omuli ne ssente.

Nakato gwe baasaze emikono.

Nakato gwe baasaze emikono.

POLIISI n'abeebyokwerinda abalala e Kyotera ne Kaliisizo banoonyereza ku bumenyi bw'amateeka obukudde ejjembe mu Kyotera omuli okutemula abantu abava mu nnimiro ne bababbako ebintu byabwe omuli ne ssente.

Namaato gwe baasaze okutu.

Kigambibwa nti, akakundi k'abatemu kano kagwikiriza abantu akawungeezi nga bava okulima ne babasogga ebiso n'okubaggyako ebyabwe. Kino kiddiridde abatemu bano okutemula abantu basatu mu wiiki emu ne banyagibwako ebyabwe ng'era baabateega badda waka ekitadde ab'e Kyotera ku bunkenke.

Kino kiwalirizza poliisi n'abeebyokwerinda okutandika okunoonyereza ku batemu bano! Mu kiro ekyakeeseza ku Lwokutaano waliwo abakyala babiri okuli Catherine Namaato 27, amanyiddwa nga Maama Tressure eyattemuddwa ng'ono okutu baakuyuzizza.

Namaato agamba nti, "Nze nsiika Mmamba akawungeezi mu Kyotera ku Bbibiro era nabadde naakanyuka omutemu n'anva emabega n'antema omulundi ogwasoose nga nsaba ssente. Wabula nabadde nkutte akaso nange ne nkamufumita era kuntegeeza nti, "ggwe ka nkusale busazi nkutte." Olwawulidde ebyo ne nkuba enduulu abantu ne bajja olwo ye n'adduka." Namaato bwannyonyola.

Mu kiro kye kimu baafumise ne Faridah Nakato 35, ng'ono alina omudaala okumpi n'essundiro ly'amafuta erya Total mu kibuga Kyotera. Ono baamusozze ebiso ku mikono gyombi naye ng'alemedde akasawo ke omwabadde ssente.

Nakato naye agamba omuttemu yabaddee omu ng'era ono yamusanze ava ye gye yabadde. Yabadde yaakamuyitako n'amukyukira n'amusogga ebiso ng'eno bw'amulagira okutta ensawo gye abadde akutte kyokka ne yeerema ng'eno bw'amusala ebiso wabula n'akuba enduulu olwo n'adduka.

Ababiri bano bajjanjabirwa mu ddwaaliro lya Kyotera Muslim Health Center mu kibuga Kyotera. Akulira poliisi y'e Kyotera Asimwe Muteera yategeezezza nti, banoonyereza okuzuula abali emabega w'obubbi buno era n'agumya ab'e Kyotera nti abanaakwatibwa baakuvunaanibwa

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Sheikh ng'annyonnyola okutalaka mu Busiraamu.

▶️ TAASA AMAKAGO: OKUTALA...

TAASA AMAKAGO: OKUTALAKA MU BUSIRAAMU KYE KI?

Lumbuye Nsubuga mmeeya wa Makindye Ssaabagabo (ku kkono), minisita Magyezi ne  Mbabazi RDC wa Wakiso nga balaga sitampu z’ebyalo ezaatongozeddwa.

▶️ Gavumenti etongozza si...

GAVUMENTI entongozza sitampu z'ebyalo, minisita wa Gavumenti ezeebitundu Raphael Magyezi n'alabula abakulembeze...

Owa LDU, Emmanuel Ogema (ku kkono), David Owiri (amuddiridde), Vincent Olenge ne Jakis Okot (ku ddyo) abaakwatiddwa.

▶️ Owa LDU bamukwatidde mu...

OMUJAASI wa LDU bamukwatidde mu kibinja ky'abakukusa amasanga n'ebitundu by'ensolo z'omu nsiko eby'omuwendo. ...

Papira (ku kkono), Acieng, Kobugabe ne Isaac Mukasa, akulira engule za Fortebet Real Star Monthly Awards. Mu katono ye Komakech.

Owa Hippos ajja kusinga Ony...

FLORENCE Acieng, nnyina wa ggoolokipa wa Hippos (ttiimu y'eggwanga ey'abali wansi w'emyaka 20), agambye nti mutabani...

Minisita Kitutu

Gavumenti yaakuwa abantu 30...

GAVUMENTI eyanjudde enteekateeka okuddamu okugabira amaka 300,000 mu byalo amasannyalaze okutandika ku Mmande ya...