TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Abaagwa mu kamyufu ka NRM beegasse ku DP e Kyotera

Abaagwa mu kamyufu ka NRM beegasse ku DP e Kyotera

Added 2nd December 2020

AKALULU ku bifo bya Palamenti n'Obwassentebe bwa disitulikiti keeyongeddemu ebbugumu oluvannyuma lw'abamu ku baagwa mu kamyufu ka NRM mu disitulikiti y'e Kyotera okwegatta ku DP okusiguukulula ebikonge bya NRM byonna.

Kisekulo (akutte omuzindaalo) n’abalala abaasuddewo NRM ne beegatta ku DP. Emabega ye Mpalanyi.

Kisekulo (akutte omuzindaalo) n’abalala abaasuddewo NRM ne beegatta ku DP. Emabega ye Mpalanyi.

AKALULU ku bifo bya Palamenti n'Obwassentebe bwa disitulikiti keeyongeddemu ebbugumu oluvannyuma lw'abamu ku baagwa mu kamyufu ka NRM mu disitulikiti y'e Kyotera okwegatta ku DP okusiguukulula ebikonge bya NRM byonna.
Bano baakulembeddwa ssentebe wa disitulikiti Patrick Kintu Kisekulo. Baabadde mu kisaawe ky'e Kaliisizo mu lukuhhaana aba DP disitulikiti y'e Kyotera okuli John Lukwago Mpalanyi ne Robinah Ssentongo lwe baakubye.
Kyokka Kisekulo n'ekibinja kye baasanze akaseera akazibu bwe baalagiddwa okwetondera abantu olw'okuleeta omubaka w'e Kyotera, Haruna Kyeyune Kasolo gwe beefuulidde n'okwenyigira mu kubba obululu bwa DP ekibadde kigiremesa okuwangula ebifo mu disitulikiti eno era obujulizi buno be baabwewaddeko.
Kisekulo yasabye abantu bamusonyiwe nga Eklezia bwe yamusonyiwa bwe yeenenya olw'ebikolwa ebikyamu bye yeenyigiramu ng'akyali ne Kasolo mu NRM. Tom Balojja ssentebe wa DP owa disitulikiti yalangiridde nga bwe batagenda kwetaba mu nteekateeka ya Pulezidenti wa DP, Norbert Mao okumunoonyeza akalulu.
Robinah Ssentongo (DP) yagambye nti omubaka omutuufu alina okutuusa eddooboozi ly'abantu mu Palamenti ate n'abasakira okukola ku bizibu ebyenjawulo mu kitundu nga bw'akoze ng'ayamba amasomero, amalwaliro ng'agawa amasannyalaze ga ssola n'ebirala.
Mpalanyi (DP) yasabye ab'e Kyotera okwegobako obukulembeze obusosola era obutawa ddiini na bukulembeze balala kitiibwa era n'abasaba bamulonde kubanga y'asobola okuzza engulu enkulaakulana y'ekitundu.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omulabirizi Rt. Rev Kityo Luwalira ng'akwasa Ven. Canon Moses Banja ne mukyala we Rev. Can Dr. Banja Baibuli.

Mwongere okusabira Ssaabasa...

OMULABIRIZI w'e Namirembe Wilberforce Kityo Luwalira, akunze Obuganda okwongera okusabira  Ssaabasajja Kabaka,...

Dombo ng'annyonnyola.

Pulezidenti waakusooka kusi...

Omukulembeze w'eggwanga, Yoweri Kaguta Museveni asazeewo okutandika okusisinkana ababaka ba NRM abapya abaakalondebwa...

Katikkiro Mayiga ng’ayogera.

▶️ Ebibuuzo 10 eri Katikkir...

ABATAKA abakulu b'ebika n'abantu ab'enjawulo bavuddeyo ku byayogeddwa Katikkiro Charles Peter Mayiga ku mbeera...

Wakabi abatuuze gwe baakubye nga bamulumiriza okumenya ebbaala n'abba.

'Munsonyiwe okubba naye mu ...

KINYOZI bamukwatidde mu bubbi n'asaba bamusonyiwe kubanga  mu saluuni  temuli ssente zimumala kweyimirizaawo....

Abakungubazi nga bakungaanye okulaba agambibwa okumenya emmotoka n'abba eyakubiddwa mu kuziika Fr. Tamale .

Bakubye agambibwa okubba mu...

ABAKUNGUBAZI batebuse omubbi agambibwa okulabiriza Bafaaza nga bali mu Mmisa eyawerekedde munnaabwe Fr. Joseph...