
Bp. Kakooza ng’aggulawo Klezia empya eya St. Balikuddembe Buikwe Sub - Parish.
OMUSUMBA w'essaza ly'e Lugazi Bp. Christopher Kaooza alaze okutya olw'engeri obulwadde bwa corona gye bweyongera okukwata abantu mu disitulikiti y'e Buikwe ky'agambye nti kyeraliikiriza.
Agambye nti okusinziira ku lipoota eyaakakolebwa, abantu bangi mu Buikwe bakwatiddwa obulwadde n'abalala bafudde n'asaba abantu bonna okwambala ‘masiki' ng'eno ye ngeri yokka gye balina okuwona okukwatibwa corona.
Bino Bp. Christopher Kakooza abyogedde aggulawo Klezia empya eya St. Balikuddembe Buikwe Sub-Parish ezimbiddwa Abakristu nga bayambibwako mukwano gwabwe okuva mu Ireland. Asabye abantu okwekwasa Katonda nga bwe balindirira ekiseera kyabwe eky'oluvannyuma.