TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Akoze essigiri ezikolera ku manda n'amaanyi g'enjuba

Akoze essigiri ezikolera ku manda n'amaanyi g'enjuba

Added 2nd December 2020

Ssigiri bwe zirabika nga ziwedde.

Ssigiri bwe zirabika nga ziwedde.

Claus Archilles Lumu 23 omutuuze w'e Ntinda akoze ssigiri ekolera ku maanyi g'enjuba ekiyamba okukekkereza ku manda. Agamba nti ekirowoozo ky'okukola ssigiri eno gy'ayita ‘Solar Stove' yakiggya ku ttendekero e Ndejje ng'omusomesa abasabye okubaako kye bayiiya bwe baali bagezesa okukola( Internaship).

Omukyala asiika cipusi e Ntinda ng'akozesa ssigiri ya ssola.

"Bwe twamala okusoma nanoonya bannange bwe twasoma bana ne tulowooza ku kiyinza okutufunira ssente kwe kuyiiya ssigiri eno nga tumaze okukakasa nti tekoma mu kutufunira bufunizi ssente wabula n'omuntu abeera agikozesa emuyamba okukekkereza ssente.

Essigiri eno okumanya yanjawulo esobola okukozesa amasannyalaze aga bulijjo ssaako ag'enjuba kubanga mu kugizimba eteekebwamu ekiwujjo ng'ekozesa mayinja ag'omu nsozi, ezimbibwamu ekifo mw'osobola okutereka bbaatule ezigiyamba okukuma omuliro ogubeera guvudde mu masannyalaze aga bulijjo n'ago ag'enjuba.

Essigiri ze bakola nga bwe zifanaana.

TUTANDIKA OKWEKOZESA:                                                                                                                                                                    Twasoma byamasannyalaze, era kubanga kye twayiiya kyali kituukira ddala ku byatusomesebwa tetwafuna nnyo kusoomoozebwa. Naye nga entandikwa bw'eteba nnyangu, ekyasinga okutuzibuwaliza omulimu zaali ssente, kubanga ebikozesebwa okutuuka ku mutendera gw'essigiri gye njogerako bya bbeeyi, ng'omuntu kimwetaagisa okubeera ne ssente waakiri ezitandikirwako 500,000/-.

Twagezaako okutakula emitwe okunoonya mu bantu baffe ne tusobola okufuna ssente 500,00/- ng'era zino ze twakozesa nga Entandikwa okutandika omulimu guno. Twazikozesa okugula ebikozesebwa mu ssigiri era mu katale omukisa gwatukwata netusaanga ne bbeeyi ya matiriyo eyetagisibwa si wa bbeeyi nnyo.

Omulimu guno okugwongerako omutindo twafuna bakasitooma abaatuwa odda okubakolera ebyotto mu ngeri y'emu ng'esigiri nga birina ebikozesebwa bye bimu. Abantu bangi essigiri zaffe bazettanidde nnyo wadde nga mu kusooka baali tebazitegeera, era omwezi ogwasooka essigiri emu twagitundanga wakati wa 200,000/- ne 300,000/- kyokka olw'ebbeeyi ye bikozesebwa okulinya kati tugitunda 500,000/-.

EBYETAAGISA OKUKOLA ESSIGIRI N'EKYOTO EBY'AMAANYI G'ENJUBA                                                                                              l. Amasannyalaze: Tugakozesa mu kwokya ebyuma ebiteekebwa ku ssigiri ne mu kyoto, era tugakozesa nga tugassa mu bbaatule ezeeyambisibwa mu kwaka. Amasannyalaze g'amaanyi g'enjuba nago gakola ku mutendera guno nga byombi bye bikozesebwa mu kukuma essigiri oba ekyoto.                                                                                                                                    2. Amabaati: Gano gassibwa ku mubiri gw'essigiri nga tugizimba nga gano ge gayamba essigiri okugirabisa obulungi n'okugigumya.                                                                                                                                                                                                   3. Enjazi z'omu nsozi: kizibu okugula essigiri eno n'otafunirako mayinja gano. Gano gakola ng'amanda olw'ensonga nti gakwata mangu omuliro kw'ossa n'okukekkereza obungi bw'amanda g'okozesa.                                                                              4. Amanda n'olusennyente: Bino byeyambisibwa mu kutandika okukuma omuliro newankubadde ng'oluusi amanda geetaagisa, naye ku ssigiri eno weetaaga matono.                                                                                                                                     5. Omusenyu ne bbulooka: Bino byeyambisibwa mu kuzimba essigiri nga bbulooka zikozesebwa okwawula ebisenge by'essigiri n'okugikuuma ng'eri wamu.                                                                                                                                                       6. Bbaatuule: Omuntu ayinza okwebuuza omugaso gwa bbaatuule mu ssigiri zino naye eyamba okutereka omuliro oguva ku maanyi g'enjuba nga guno gwe gusobozesa ekiwujjo okutambula okuyamba essigiri okukola obulungi.

7. Amaanyi g'enjuba: Gano ge gavaamu amasannyalaze agasobozesa essigiri eno okukwata omuliro mu bwangu. Kizibu essigiri eno okwaka nga teteereddwamu masannyalaze olw'ensonga nti ge gayamba ekiwujjo ekiri mu ssigiri okutambula olwo essigiri n'eryoka ekwata mangu omuliro.

EKIBALO Amasigiri gano tugakola nga waliwo abamaze okugasaba kyokka buli luvannyuma lwa wiiki tubeerako n'ekyoto kye tuzimba era abantu ssekinnoomu be batutuukirira. Essigiri emu ng'ewedde tugitunda 500,000/- ng'eno ezitowa kkiro 20 olw'amayinja n'ebintu ebirala ebigiteekebwamu. Okuzimba ekyoto nga bino eby'amasomero tukozesa ebintu ebiwerako omuli, amayinja g'enjazi, omusenyu n'ebirala nga kiggweera mu 800,000/-, nga kigula wakati wa 1,500,000/- ne 2,000,000/- okusinziira ku bunene.

OKUSOOMOOZEBWA: Essigiri zino zikyali za bbeeyi ekireetedde abantu obutazettanira nga kino kizihhamizza omulimu gwaffe kubanga bakasitoma bakyali batono ddala. Enjazi oba amayinja g'omu nsozi, gano tugaggya Kasese nga bakasitoma babeera bageetaaga kyokka nga tetusobola kukozesa bwangu bwe baagala. Amasannyalaze agakozesebwa mu kwokya ebyuma ebiteekebwa mu ssigiri ga buseere.

EBIRUUBIRIRWA: Mu ntandikwa twali abakozi bana wabula nga mu kiseera kino tuweze 10. Mu myaka etaano tulina ekiruubirirwa eky'okugaziya empeereza yaffe etuuke mu bifo ebyetoolodde Kampala. Tulina ekirooto ky'okutandikawo ettendekero ly'okubangula abavubuka mu mulimu guno.

BYE TUFUNYE: Ekirooto kyaffe kyali kyakufuna mulimu tusobole okwekozesa era kyatuukirira. Twafunye ekifo ekyaffe mwe tukolera emirimu gino ne tuwona obupangisa. Wadde tetunnatandika ttendekero kyokka waliwo abavubuka be tuyigirizza omulimu guno.

AKATALE: Akatale kaffe akasinga kakyali mu masomero nga gettanidde ebyoto bye tuzimba kubanga bikekkereza. Kyokka essigiri zi sinze kwettanirwa ba wooteeri n'abatunda ebyokulya.

EBITUYAMBYE OKUFUNAMU: Newankubadde bizinensi y'essigiri n'ebyoto abantu abasinga tebannagitegeera tufuba okugikolera akatale nga twogera ebirungi ebigirimu. Kino kiyambye bangi okumanya nti bakendeeza ssente nga bakozesezza ssigiri z'amaanyi g'enjuba ssente ze babadde bagenda okukozesa mu manda ne bazifissa.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Andrew Ssenyonga

Ssenyonga alangiridde nga b...

Ssenyonga alangiridde nga bw'avudde mu lwokaano ng'okulonda kubulako ssaawa busaawa kuggwe. Ssentebe wa disitulikiti...

Joe Biden ng'alayira nga pulezidenti wa Amerika owa 46.

Joe Biden alayiziddwa nga ...

WASHINGTON Amerika Munna DP, Joe Biden alayiziddwa nga pulezidenti wa Amerika owa 46,  n'asikira Donald Trump...

Omusumba eyawummula John Baptist Kaggwa

Kitalo! Omusumba w'Essaza l...

Kitalo! Omusumba w'Essaza ly'e Masaka eyawummula John Baptist Kaggwa afudde Corona. Omusumba Kaggwa abadde amaze...

Omusumba w'Abasodookisi any...

Mu bantu abatenda ssennyiga omukambwe mwe muli Omusumba w’Abasodookisi Silvestros Kisitu atwala kitundu ky’e Gulu...

Eddwaaliro lya Mukono ng’abalwadde balindiridde obujjanjabi.

Omujjuzo mu ddwaaliro e Muk...

Abalwadde n’abajjanjabi mu ddwaaliro e Mukono beeraliikirivu olw’omujjuzo oguyitiridde gwe bagamba nti gwandibaleetera...