TOP
  • Home
  • Amawulire
  • 'Ab'ebyokwerinda mukomye okukola effujjo ku beesimbyewo'

'Ab'ebyokwerinda mukomye okukola effujjo ku beesimbyewo'

Added 2nd December 2020

Omubaka akiikirira essaza ly’e Lwemiyaga mu Disitulikiti y'e Ssembabule, Theodore Ssekikubo asabye ebitongole ebikuuma ddembe okukomya okukola effujjo ku bantu abavuganya ku ntebe y’obwa pulezidenti naddala Robert Kyagulanyi amanyiddwa nga Bobi Wine.

Omubaka Ssekikubo.

Omubaka Ssekikubo.

Omubaka akiikirira essaza ly'e Lwemiyaga mu Disitulikiti y'e Ssembabule, Theodore Ssekikubo asabye  ebitongole ebikuuma ddembe okukomya okukola effujjo ku bantu abavuganya ku ntebe y'obwa pulezidenti naddala Robert Kyagulanyi amanyiddwa nga Bobi Wine.

Ssekikubo (ku ddyo) mu lukiiko.

Ssekikubo okuvaayo kiddiridde abakuumaddembe okusalako Bobi Wine ne bamulemesa okutuuka gye yabadde alina okunoonyeza akalulu wamu n'okukuba amasasi mu bantu agaalumizza abantu be babiri n'okwabya omupiira gwa mmotoka ye.

Ono agambye nti nga bbo abakutte bendera ya NRM abatandise okuwenja akalulu ka Pulezidenti Museveni boolekedde olusozi gambalagala okunyikiza enjiri mu bantu ng'ebikolwa eby'okuyiwa omusaayi bigenda mu maaso ku booludda oluvuganya Gavumenti.

Ssekikubo asabye okulonda okwa 2021 kuyimirizibwe mbagirawo ssinga tewabaawo kikolebwa era yeegasse ku babaka banne okusaba Omukubiriza wa Palamenti y'eggwanga okuyita olutuula mbagirawo okusala entotto ku ngeri gye bayinza okukomya effujjo erikolebwa ku beesimbyewo.

Okwogera bino abadde ku kitebe kya Disitulikiti gy'abadde agenze okwetaba mu lukiiko lw'abakulembeze ba NRM e Ssembabule n'okutongoza kampeyini z'okunoonyeza Pulezidenti Museveni akalulu.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omulabirizi Rt. Rev Kityo Luwalira ng'akwasa Ven. Canon Moses Banja ne mukyala we Rev. Can Dr. Banja Baibuli.

Mwongere okusabira Ssaabasa...

OMULABIRIZI w'e Namirembe Wilberforce Kityo Luwalira, akunze Obuganda okwongera okusabira  Ssaabasajja Kabaka,...

Dombo ng'annyonnyola.

Pulezidenti waakusooka kusi...

Omukulembeze w'eggwanga, Yoweri Kaguta Museveni asazeewo okutandika okusisinkana ababaka ba NRM abapya abaakalondebwa...

Katikkiro Mayiga ng’ayogera.

▶️ Ebibuuzo 10 eri Katikkir...

ABATAKA abakulu b'ebika n'abantu ab'enjawulo bavuddeyo ku byayogeddwa Katikkiro Charles Peter Mayiga ku mbeera...

Wakabi abatuuze gwe baakubye nga bamulumiriza okumenya ebbaala n'abba.

'Munsonyiwe okubba naye mu ...

KINYOZI bamukwatidde mu bubbi n'asaba bamusonyiwe kubanga  mu saluuni  temuli ssente zimumala kweyimirizaawo....

Abakungubazi nga bakungaanye okulaba agambibwa okumenya emmotoka n'abba eyakubiddwa mu kuziika Fr. Tamale .

Bakubye agambibwa okubba mu...

ABAKUNGUBAZI batebuse omubbi agambibwa okulabiriza Bafaaza nga bali mu Mmisa eyawerekedde munnaabwe Fr. Joseph...