TOP

Ono Hajati olweza lwe baamunaaza lwanoga

Added 2nd December 2020

Hajji Musa Ssetwalo ne Hajati we nga bafa essanyu.

Hajji Musa Ssetwalo ne Hajati we nga bafa essanyu.

Bwe luba lweza, ono mwana muwala manya maama w'abaana, Hajati Janat Nansubuga abangi gwe bamanyi nga Hajati Ssempala lwe baamunaaza lwanoga. Mu njogera ennyangu, alinga ono ow'e Kakuuto Geoffrey Lutaaya gw'ayimbako.

Hajati Nansubuga ng'asala ddansi ku mbaga.

W'osomera bino nga  bamukubye embaga eyookusatu. Ate towakana kubanga bino byabaddewo nga November 26, 2020. Omanyi omukyala ono yafumbirwa Hajji Ssempala eyasooka okumusasula mu bakadde be ng'olwo mutabani wa bumaali akyabeekubya empi. Ssente bwe zaawerawo embaga ne bagiddamu nga beeraga amapenzi ng'oyinza okulowooza nti baakeewasa.

Kyokka nga bw'omanyi eby'abafumbo, jjo ly'abalamu baafunye obutakkaanya buli omu ne yeerabira ebirungi munne by'amukoledde okukakkana nga baawukanye. Engeri Hajati Janat gy'akyalimu emunye, yafuniddewo omusajja omulala n'amukuba embaga.

OLI WANGE: Hajji Musa ne Hajati nga bamema.

Owoolugambo waffe atugambye nti loodi ono eyamupasudde ye Hajji Musa Ssetwalo ow'e Naggalama - mu disitulikiti y'e Mukono. Waliwo atukubye akaama nti Ssetwalo yaliko muninkini wa Hajati ng'akyali muwala muto n'amuzaalamu n'omwana nga kano kaabadde kaddannyuma.

Ssetwalo musajja musuubuzi wa mmwaanyi n'amaliba nga mutabani w'omugenzi Hajji Mulo ow'e Naggalama.

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omuzannyi wa Villa (ku kkono) n'owa Busoga United nga bagoba omupiira mu gwa liigi ogusembyeyo. Baagwa maliri, 1-1.

VILLA ETUNUZZA OMUDUMU MU UPDF

Leero (Lwamukaaga) mu Liigi (10:00); SC Villa - UPDF, Bombo Onduparaka - Vipers, Arua KCCA - Kitara, Lugogo Bright...

Cheptegei ng'ajaganya.

Likodi za Cheptegei zimweyi...

ENJOGERA egamba nti ‘Katonda nga yaakuwadde, n'ennume ezaala' etuukira bulungi ku muddusi Joshua Cheptegei. Ye...

Ivana Ashaba (mu maaso), owa Hippos ng'alemesa owa Burkina Faso okutuuka ku mupiira.

Hippos eyiseemu kavvu

ENKAMBI ya ttiimu y’eggwanga ey’abatasussa myaka 20 (Hippos), yeeyongeddemu ebbugumu, FUFA bwe baawadde doola 80,000...

Ttakisi mu paaka enkadde.

'Bbeeyi y'entambula esusse'

ABABAKA ba palamenti bennyamivu olw’ebisale by’entambula ebyeyongera okulinnya buli lukya ekinyigiriza abasaabaze....

Fr. Kabagira ne Fr. Mubiru nga baganzika ekimuli ku ntaana ya Ssaabasumba Joseph Kiwanuka mu Eklezia e Lubaga.

Bajjukidde Ssaabasumba Kiwa...

ABAKKIRIZA bajjukidde Ssaabasumba Joseph Nakabaale Kiwanuka eyafa nga February 22, 1966 n’aziikibwa mu Eklezia...