
Kanso Abdallah Kiwanuka.
AVUGANYA ku kaadi ya National Unity Platform (NUP) ku kifo ky'omubaka wa Mukono North mu lukiiko lw'eggwanga olukulu, kanso Abdullah Kiwanuka Kayongo amannyiddwa nga Mulima Mayuni ekiro ekikeesezza olwaleero akimaze mu kadduukulu ka poliisi e Mukono ng'avunaanibwa okukuma omuliro mu bantu, okwonoona ebintu bya Gavumenti wamu n'okuggala ekkubo.
Kiwanuka okukwatibwa yabadde agenze ku poliisi ku nsonga z'abawagizi be mwenda abaakwatibwa ku nsonga z'okwekalakaasa omubaka Robert Kyagulanyi era avuganya ku ntebe y'obwapulezidenti bwe yakwatibwa mu disitulikiti y'e Luuka gye buvuddeko n'atwalibwa mu kkomera ly'e Nalufenya.
Ono yakwatiddwa ku biragiro by'akulira okunoonyereza mu kitundu kino, ASP Fred Oyaka. Naima Kasasa looya wa Kanso Kiwanuka agamba nti ku fayiro y'omuntu we yali yaggulwako omusango gw'okugezaako okusaasaanya ekirwadde kya COVID 19 era nga bwe yatwalibwa ew'omuwaabi wa yawabula poliisi ng'omusango guno bwe gutalimu gumba kyokka bino byonna poliisi teyabiwuliriza.
Kiwanuka avuganya ne munna NRM era Minisita omubeezi ow'amazzi Ronald Kibuule. Gye buvuddeko Kiwanuka yakwatibwa ku misango gyegimu bwe yali agezaako okugabira abantu emmere mu biseera by'omuggalo wabula oluvannyuma kkooti emisango n'egigoba.