
Abantu e Bussi nga balinze okusomoka ku nnyanja.
ABATUUZE mu ggombolola y'e Bussi mu disitulikiti y'e Wakiso balaze bye baagala abakulembeze baabwe bakole bwe banaaba babalonze omwaka ogujja.

Baanokoddeyo ebyo ebikyagaanye ate n'okubasaba okwongera amaanyi mu bimu ku bikoleddwa. Gillary Odongo omutuuze ku kyalo Zinga mu Bussi yategeezezza nti balina okusoomoozebwa olw'amagye okubakuba kibooko buli lwe bagenda ku nnyanja okuvuba ekireetedde abamu okufi irwa obulamu bwabwe abalala ne bavaayo n'ebisago eby'amaanyi.
"Ffe tuli ku nnyanja era emirimu egisinga kwe tugikolera naye omukulembeze anaavaayo okutugonjoolera ekizibu ky'okutulugunyizibwa ku nnyanja gwe tugenda okulonda," Odongo bwe yategeezezza. Yanokoddeyo n'eky'amakubo amabi ku kyalo Zinga ng'emmotoka ezandibadde zigakola tezirina bwe zituukayo kuba ekitundu kyetooloddwa nnyanja.
Sarah Namwanje ow'oku kyalo Ggulwe mu Bussi yategeezezza nti balina ekizibu ky'obutaba na ddwaaliro mu kitundu era kisinga kukosa bakyala. "Ekiseera ky'okuzaala, abakyala abasinga balinnya lyato ne batwalibwa e Ntebe kyokka olw'obuwanvu bw'olugendo, abamu bafi ira ku nnyanja. Abakulembeze batusembereze eddwaaliro okumpi," bwe yagambye.
Yagasseeko nti n'ebyenjigiriza bikyali bibi olw'obutaba na masomero gamala. Namwanje yagambye nti kikaluubiriza abayizi okusomoka okuva ku kizinga ekisooka okudda ku kirala era bangi bwe babikoowa nga batandika kuvuba. Ebbula ly'amazzi nakyo kibobbya abatuuze emitwe. Balaze n'ebyokwerinda okuba ebinafu.
BWANIKA ANNYONNYODDE: Ssentebe wa disitulikiti y'e Wakiso, Matia Lwanga Bwanika nnyonnyodde nti amakubo obutakolebwa ku kyalo Zinga kivudde ku ntambuza y'ebimotoka ebigakola okubulwa we biyita.Yagambye nti omukisa ogwandibaddewo kwe kugatta Zinga ku Kammengo nga weetaagawo enteeseganya n'abakulembeze b'e Mpigi ku nsonga eno.
Ku ky'amazzi, yagambye nti disitulikiti esobodde okuteekawo ekifo ku kizinga Bussi ekisaasaanya amazzi mu batuuze nga kikolera ku masannyalaze g'enjuba.