TOP

Museveni akunze abavubuka ku kweggya mu bwavu

Added 3rd December 2020

Pulezidenti Museveni e Bukedi.

Pulezidenti Museveni e Bukedi.

PULEZIDENTI Museveni asabye abavubuka okulonda abakulembeze abalina entegeka z'okubaggya mu bwavu okusinga okwesiba ku beeyita abavubuka kyokka nga tebalina ntegeka ebakulaakulanya.

Yabyogedde asisinkanye abavubuka mu bitundu bye Bukedi abaavudde mu disitulikiti ye Tororo, Butaleja, Busia, Budaka, Kibuku, Pallisa ne Butebo abaakuhhaanidde mu kisaawe ky'essomero lya Mbale SS. Museveni yalabudde abavubuka okwewala abantu nga Bobi Wine kuba tasobola wadde okwogera ku ssente z'abavubuka mu Palamenti, okuggyako okusasaanya obulimba.

Pulezidenti Museveni ng'asisinkanye abakulembeze b'abavubuka e Bukedi.

Yagambye nti Gavumenti ya NRM efubye okulaba ng'abakyala n'abavubuka baweebwa ssente z'okwekulaakulanya wadde nga ye si muvubuka. Ab'e Bukedi yabakuutidde okulwanyisa obwavu nga batandikira mu maka nga bayita mu kulima n'okulunda ebintu eby'enjawulo.

Pulezidenti yasuubizza okukolera abavubuka ebintu eby'enjawulo ng'abanaaba babanguddwa mu masomo ag'enjawulo e Kyankwanzi baakuweebwa emirimu. Abavubuka bonna baakuganyulwa mu ssente z'emyooga ezigenda okuweebwa ebibiina by'obwegassi mu buli konsitityuwensi.

Okusoomoozebwa okukyaliwo mu bavubuka ng'ebbula ly'emirimu kiri mu kukolwako nga Gavumenti eyita mu nteekateeka ez'enjawulo ng'okuzimba amakolero agajja okubawa emirimu n'okubatandikirawo ebifo ku magombolola ebibangula emirimu egy'enjawulo egy'omu mutwe.

Benard Odoi Onen akwatidde NRM bbendera okuvuganya ku kifo ky'omubaka w'abavubuka b'obuvanjuba yasiimye Pulezidenti olwa kaweefube w'okubakulaakulanya gw'ataddewo. Yanokoddeyo eky'okuwa bbasale abaana abava mu maka agateesobola, okusoma kw'obereere mu siniya ne pulayimale nga n'okusoma mu matendekero g'ebyemikono kugenda kufuuka kwa bwereere.

Abavubuka bafunye ssente z'okwekulaakulanya awamu n'amakolero agabawadde emirimu. Abavubuka baasabye Pulezidenti akkirize bakyaleko mu emu ku ffaamu ye, kibayambe okwongera okubangulwa mu by'obulimi n'obulunzi.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Mmotoka ya minisita Atwoki eyakubiddwa amasasi.

Minisita asimattuse amasasi

Minisita omubeezi avunaanyizibwa ku byenfuna mu offiisi y'omumyuka wa Pulezidenti, Dr Baltazar Kasirivu-Atwooki,...

Kiddu (ku kkono) ne munne.

Bannabyamizannyo abattiddwa...

Nga December 30 omwaka oguwedde, abantu abatamanyiddwa baasindiridde Isaac 'Zebra' Senyange, eyaliko kapiteeni...

Sserunjogi ng’alaga ebintu by’atonaatona omuli essaati, ebikopo n’ebirala ebikozesebwa mu kunoonya obululu okusikiriza abalonzi.

Sserunjogi kkampeyini aziko...

AWAGWA ekku tewabula kalondererwa, ekiseera kya kkampeyini bangi bakikozesezza okuyiiya ssente era gubeera mugano...

Ssentebe Andrew Kasatiiro ng'agezaako okunnyonnyola abaatafunye butimba.

Ab'e Jinja Kalooli batabuki...

Abatuuze b'e Jinja Kalooli mu Wakiso beeweereza ebisongovu n'abakulembeze baabwe lwa butabawa butimba bwa nsiri....

Kasibante ku mpingu  ng'akwatiddwa.

Agambibwa okugezaako okufum...

OMUSUUBUZI   aloopye omuvubuka ku poliisi n'amulumiriza  okumuggyiraayo ekiso amufumite abaduukirize ne bamutaasa....