TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Ab'akatale k'e Wandegeya balemesezza minisita okulondesa

Ab'akatale k'e Wandegeya balemesezza minisita okulondesa

Muteesasira n’abasuubuzi abalala nga balumbye minisita.

Muteesasira n’abasuubuzi abalala nga balumbye minisita.

ABASUUBUZI mu katale k'e Wandegeya balemesezza minisita wa Kampala, Nnalongo Benny Namugwanya okulondesa abakulembeze mu katale kano ng'entabwe evudde ku butakkaanya n'obumu ku buwaayiro obulina okugobererwa okwesimbawo era gye biggweeredde nga poliisi ekubye omukka ogubalaala mu basuubuzi.

Nga September 25, 2020, Pulezidenti Museveni yawandiikira KCCA ng'agiragira okweddiza obutale bwa gavumenti bwonna era eteekewo okulonda kw'abakulembeze abaggya mbagirawo nga yeesigama ku ky'okuba nti obukulembeze obubbadde mu butale buno bunyaga abantu nga bubakanda ssente mpitirivu.

Eggulo e Wandegeya lwe baabadde balina okulonda kyokka okulonda kwayiise olw'emivuyo egyakwetobeseemu era obuyinza ne bukwasibwa KCCA okugira ng' eddukanya akatale kano okutuusa lwe banaddamu okutegeka okulonda mu wiiki emu.

Embeera yasoose kubeera ya ddembe era ng'abasuubuzi basanyufu nga buli ludda olw'abaabadde beesimbyewo okwabadde olwa Ceasar Joseph Yiga n'olwa Mawejje Muteesaasira bawaga. Omubaka wa pulezidenti mu Kawempe, Hussein Hood y'omu ku baasoose okwogera n'abuulira abantu omukulembeze kwe yasinziira okulagira okukyusa obukulembeze oluvannyuma lw'okukizuula nti abaali mu buyinza baali banyaga abantu.

Hood yasabye abasuubuzi okukuuma eddembe era n'abakubiriza okuwagira pulezidenti Museveni kubanga yabategeera. Oluvannyuma minisita Benny Namugwanya naye yakutte akazindaalo n'asooka ayisa abasuubuzi mu mitendera gye bagenda okuyitamu okulonda.

Yannyonnyodde nti olukiiko olugenda okulondebwa lugenda kukolera emyezi mukaaga nga luliko abantu musanvu okuli abakungu ba KCCA bataano nga kwe kuli akola nga ssentebe olw'okwegattibwako abasuubuzi babiri omwami n'omukyala ekitaasanyudde basuubuzi bano.

Minisita era yannyonnyodde nti omulonzi alina okuba omusuubuzi mu katale ng'alinamu omudaala ekintu kye baawakanyizza. Kyokka bwe yatuuse ku muntu alina okwesimbawo n'abategeeza nti alina kubanga talina buweereza mu ofiisi ya gavumenti yonna wadde ssentebe w'ekyalo.

Wano Mawejje Muteesaasira n'abawagizi be tebaamulinze kumalayo ne bamwambalira nga bamulumiriza okuba ne kyekubiira olw'okuba akawaayiro kano kaabadde kaggya Muteesaasira mu lwokaano ne bamulumba okwagala okumugwa mu malaka.

Muteesaasira yalangiridde nga bwasuddewo ofiisi ya ssentebe w'ekyalo owa Wandegeza zzooni. Akanyoolagano kaatutte ebbanga era wano minisita we yasabidde abawagizi ba Muteesaasira okukkakkana kubanga omuntu waabwe agenda kuteekebwa ku lukiiko ate kino ne kitabula abawagizi ba Lubega nga bagamba nti tebakikkiriza kuba etteeka limukwata.

Embeera yayongedde okusajjuka era minisita n'alangirira nti okulonda akwongeddeyo okumala wiiki emu okutuusa ng'enjuyi zombi zimaze okukkaanya. Oluvannyuma omukolo gwaggaddwawo kyokka abasuubuzi ne basigala mu kulwagana ekyawalirizza poliisi okubakubamu omukka ogubalagala okubagumbulula.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Mmotoka ya minisita Atwoki eyakubiddwa amasasi.

Minisita asimattuse amasasi

Minisita omubeezi avunaanyizibwa ku byenfuna mu offiisi y'omumyuka wa Pulezidenti, Dr Baltazar Kasirivu-Atwooki,...

Kiddu (ku kkono) ne munne.

Bannabyamizannyo abattiddwa...

Nga December 30 omwaka oguwedde, abantu abatamanyiddwa baasindiridde Isaac 'Zebra' Senyange, eyaliko kapiteeni...

Sserunjogi ng’alaga ebintu by’atonaatona omuli essaati, ebikopo n’ebirala ebikozesebwa mu kunoonya obululu okusikiriza abalonzi.

Sserunjogi kkampeyini aziko...

AWAGWA ekku tewabula kalondererwa, ekiseera kya kkampeyini bangi bakikozesezza okuyiiya ssente era gubeera mugano...

Ssentebe Andrew Kasatiiro ng'agezaako okunnyonnyola abaatafunye butimba.

Ab'e Jinja Kalooli batabuki...

Abatuuze b'e Jinja Kalooli mu Wakiso beeweereza ebisongovu n'abakulembeze baabwe lwa butabawa butimba bwa nsiri....

Kasibante ku mpingu  ng'akwatiddwa.

Agambibwa okugezaako okufum...

OMUSUUBUZI   aloopye omuvubuka ku poliisi n'amulumiriza  okumuggyiraayo ekiso amufumite abaduukirize ne bamutaasa....