Nakalema ng’ali ne Ndyanabo ku ofiisi za Vision Group.
AKAKIIKO akalwanyisa enguzi mu maka g'obwa Pulezidenti kalaze bye katuuseeko mu myaka ebiri okuva lwe kaatandikibwawo mu December 2018. Lt. Col. Edith Nakalema akulira akakiiko kano, yagambye nti, baakakola ku misango 60,000, baakakwata abantu 248 nga ku bano 24 gyabasinga ne baweebwa ekibonerezo.
Yagambye nti, abakozi ba gavumenti 185 baayimirizibwa ku mirimu n'omusala gwabwe ne gusalibwa ebitundu 50 ku 100 era mu myaka ebiri, basobodde okunoonyereza ku misango egyekuusa ku ssente gya buwumbi 256.
Nakalema eggulo yakyalidde kkampuni ya Vision Group efulumya ne Bukedde n'agamba nti, mu myaka ebiri basobodde okutaasa obuwumbi 24 n'obukadde 520 ezaali zibbiddwa ne zizzibwa mu Gavumenti n'okukomyawo abawala 500 abaali baatwalibwa mu mawanga ga Buwarabu.
Endala yagambye nti, waliwo obuwumbi busatu n'obukadde 600 ezaali ez'okuliyirira abantu ku mwalo gw'e Bukasa, obuwumbi bubiri n'obukadde 200 ezaali zibbiddwa mu NAGRC, akawumbi kamu n'obukadde 400 ezaali zibbiddwa kkampuni ezitwala abantu ebweru, obukadde 700 ezaali zibbiddwa mu kakiiko k'ebyemizannyo n'obukadde 120 ezaali zibbiddwa e Jinja.
Mu kukola emirimu gyabwe, Nakalema yagambye nti basanze okusoomoozebwa olw'abantu ababasalako ebigambo n'okubasiiga erinnya ebbi n'ababaloopera ate ne batagenda mu kkooti kuwa bujulizi.
Nakalema yasiimye kkampuni ya Vision Group n'emikutu gy'amawulire okuwagira okulwanyisa obuli bw'enguzi mu ggwanga n'asiima pulogulaamu ‘FFayiro ku Mmeeza' eragibwa ku Bukedde TV n'agamba nti, eyambye kinene okulwanirira omuntu wa wansi.
Ensisinkano yeetabiddwamu abakozi ba Vision Group abaakulembeddwa omukuhhanya ow'oku ntikko Barbra Kaija, Felix Osike, omukuhhaanya wa Bukedde Geoffrey Kulubya, David Mukholi, Hellen Mukiibi n'oluvannyuma ne beegattibwako amyuka akulira kkampuni ya Vision Group Gervase Ndyanabo.
Abakozi abalala baabadde bagoberera ebigenda mu maaso nga bakozesa tekinologiya wa kompyuta wa ‘Teams.'