TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Ennyama tugiridde twesunze nkoko za Gabula - Bakinjaagi

Ennyama tugiridde twesunze nkoko za Gabula - Bakinjaagi

Added 4th December 2020

Abakinjaagi mu lufula ya Old Portbell nga bajjuza akakonge ka Gabula Ssekukkulu.

Abakinjaagi mu lufula ya Old Portbell nga bajjuza akakonge ka Gabula Ssekukkulu.

ABAKINJAAGI nga bakulembeddwa abakulira, Hajji Muhammad Ssekweyama mu lufula ya Port- Bell Road beebazizza Bukedde olw'amawulire agazimba g'awa abantu n'okubakubiriza ku nsonga ezitali zimu nga ku kirwadde kya Corona n'okukuuuma abantu nga bamanyi ebigenda mu maaso.

Hajji Ssekweyama ng'ajjuza akakonge.

Wano w'asinzidde n'akubiriza banne mu lufula eno bagule amawulire ga Bukedde bajjuze akazannyo ka Gabula Ssekukkulu kuba Bukedde by'ategeka bibeera bituufu. Ono yeegattiddwaako Aron Nabwangi eyagambye nti bo ennyama bagikolamu era bagirya buli lunaku, kyokka ku Ssekukkulu beesunga kulya ku nkoko.

Ono yagambye nti takyalina Bukedde gw'asubwa atangaaze emikisa gye egy'okuwangula. Okwetaba mu kalulu kano gula kkopi y'olupapula lw'amawulire olwa Bukedde ku 1,000/- zokka, ogende ku muko ogwokubiri okuli akakonge. Jjuzaamu erinnya lyo, ennamba yo ey'essimu ne gy'obeera.

Bw'omaliriza, akakonge kaleete ku ofi isi zaffe e Lugogo mu kibangirizi kya bannamakolero oba okawe agenti waffe eyo gy'oguze amawulire. Ate ku Bukedde Fa Ma ‘Embuutikizi' linda oluyimba lwa Philly Lutaaya olwa "Merry Chrismas" nga luzannyiddwa. Bw'okuba essimu nga ggwe owookusatu, ojja kubeera muwanguzi ogende mu ‘supermarket' ya Mega Standard weefunire ebyassava.

Ne ku Bukedde Ttivvi, bw'olaba oluyimba lwe lumu n'okuba essimu, obeera owangudde. Gabula Ssekukkulu omwaka guno awagiddwa kkampuni y'ebyenkoko eya UgaChick, Mary and Jesus Wines ne Mega Standard supermaket.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omuzannyi wa Villa (ku kkono) n'owa Busoga United nga bagoba omupiira mu gwa liigi ogusembyeyo. Baagwa maliri, 1-1.

VILLA ETUNUZZA OMUDUMU MU UPDF

Leero (Lwamukaaga) mu Liigi (10:00); SC Villa - UPDF, Bombo Onduparaka - Vipers, Arua KCCA - Kitara, Lugogo Bright...

Cheptegei ng'ajaganya.

Likodi za Cheptegei zimweyi...

ENJOGERA egamba nti ‘Katonda nga yaakuwadde, n'ennume ezaala' etuukira bulungi ku muddusi Joshua Cheptegei. Ye...

Ivana Ashaba (mu maaso), owa Hippos ng'alemesa owa Burkina Faso okutuuka ku mupiira.

Hippos eyiseemu kavvu

ENKAMBI ya ttiimu y’eggwanga ey’abatasussa myaka 20 (Hippos), yeeyongeddemu ebbugumu, FUFA bwe baawadde doola 80,000...

Ttakisi mu paaka enkadde.

'Bbeeyi y'entambula esusse'

ABABAKA ba palamenti bennyamivu olw’ebisale by’entambula ebyeyongera okulinnya buli lukya ekinyigiriza abasaabaze....

Fr. Kabagira ne Fr. Mubiru nga baganzika ekimuli ku ntaana ya Ssaabasumba Joseph Kiwanuka mu Eklezia e Lubaga.

Bajjukidde Ssaabasumba Kiwa...

ABAKKIRIZA bajjukidde Ssaabasumba Joseph Nakabaale Kiwanuka eyafa nga February 22, 1966 n’aziikibwa mu Eklezia...