
Aboobuyinza nga bakunya omukazi.
Ekitongole ekivunaanyizibwa ku ddagala mu ggwanga ekya National Drug Authority kikoze eki kwekweto mu Buvanjuba bwa Uganda ne kikwata eddagala n'abantu abalitunda nga tebalina bisaanyizo.

Wabula abamu ku bannannyini buduuka buno baatabuse ne bava mu mbeera ne baagala okugwa abaabadde bakola ekikwekweto kino mu bulago nga bababuuza ekibatwaza eddagala lyabwe.

Waliwo n'abaasangiddwa nga bajjanjaba abalwadde nga tebalina lukusa nga mulimu n'abatalabanga ku lubaawo.
