TOP

Kazannyirizi Salvado ne Daphine bakiggadde

Added 4th December 2020

Salvado ne Daphine nga bakung'aanya ebirabo.

Salvado ne Daphine nga bakung'aanya ebirabo.

Kazannyirizi Salvado akiggadde mu sitayiro. Akubye kabiite we Daphine embaga ne yewaana. '' sikyali mu kiraasi y'abano ba laavu nniga b'oyinza okuyita ba ssemyekozo. Kati ndi musajja mufumbo''.

Salvado ne Daphine nga balaga satifikeeti oluvannyuma lw'okugattibwa.

Patrick Idringi amanyiddwa nga Salvado enkya ya leero agattiddwa mu bufumbo obutukuvu ne mwana munne Daphine Frankstock bwe bamaze emyaka egiwerako nga baagalana era balina n'abaana.

Omukolo gw'okugattibwa gubadde ku Klezia ya Our lady of Africa e Mbuya. Eno Salvado gy'asinzidde n'asuubiza Daphine ensi n'eggulo nagattako n'okumukakasa nga bw'agenda okumwagala obulamu bwe bwonna. Era ategeezezza nti okukuba Daphine embaga abadde amusiima olwa laavu gy'amulaze ebbanga lye bamaze bombi mwamuweeredde ne zzadde ly'abaana.

Salvado (wakati) ne banne abaamuwereddeko.

Ye Daphine nga kati ye Daphine Idringi wakati mu ssanyu agambye nti musanyufu okulaba nga bba  Salvado atuukiriza ekyo kye yamusuubiza mu July w'omwaka oguwedde bwe baali ku mukolo gw'okwanjula.

Okwawukanako n'embaga z'abantu abalala, ey'abano basazzeewo kukola ya nnaku ssatu. Baatandise ggulo n'akasiki akaabadde ku Speak Apartments, leero kubadde kugattibwa e Mbuya n'ekijjulo ku Carnival e Naggulu ate enkya (Lwamukaaga) lwe bateeseteese omukolo gw'okusembeza abagenyi baabwe e Kakiri.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Mmotoka ya minisita Atwoki eyakubiddwa amasasi.

Minisita asimattuse amasasi

Minisita omubeezi avunaanyizibwa ku byenfuna mu offiisi y'omumyuka wa Pulezidenti, Dr Baltazar Kasirivu-Atwooki,...

Kiddu (ku kkono) ne munne.

Bannabyamizannyo abattiddwa...

Nga December 30 omwaka oguwedde, abantu abatamanyiddwa baasindiridde Isaac 'Zebra' Senyange, eyaliko kapiteeni...

Sserunjogi ng’alaga ebintu by’atonaatona omuli essaati, ebikopo n’ebirala ebikozesebwa mu kunoonya obululu okusikiriza abalonzi.

Sserunjogi kkampeyini aziko...

AWAGWA ekku tewabula kalondererwa, ekiseera kya kkampeyini bangi bakikozesezza okuyiiya ssente era gubeera mugano...

Ssentebe Andrew Kasatiiro ng'agezaako okunnyonnyola abaatafunye butimba.

Ab'e Jinja Kalooli batabuki...

Abatuuze b'e Jinja Kalooli mu Wakiso beeweereza ebisongovu n'abakulembeze baabwe lwa butabawa butimba bwa nsiri....

Kasibante ku mpingu  ng'akwatiddwa.

Agambibwa okugezaako okufum...

OMUSUUBUZI   aloopye omuvubuka ku poliisi n'amulumiriza  okumuggyiraayo ekiso amufumite abaduukirize ne bamutaasa....