
Harriet Nakwedde eyagenze okulambula ku Bukirwa mu ddwaaliro.
MAAMA w'abaana Justine Bukirwa 45, eyakubwa akakebe ka ttiyaggaasi mu mbugo ne kamwabikiramu, avundira mu kalwaliro akamu e Kayunga.
Justine Bukirwa 45, ye yagudde ku kyokya ku Lwokubiri poliisi bwe yabadde agumbulula abawagizi ba Robert Kyagulanyi Ssentamu avuganya ku bwapulezidenti ku kibiina kya NUP abaabadde babemberedde ku makubo nga bamulinze e Nazigo mu disitulikitit y'e Kayunga. (Ebif. Bya Saul Wokulira)

Ono akakebe ka ttiyaggaasi kaamusanze ku mudaala gwe mu Kabuga k'e Nazigo waatundira ebintu nga nnakati, emboga n'ennyanya ne kamwabikira mu sikaati bwe yabadde alya ekyemisana. Bukirwa alina abaana mukaaga era yabadde abalabirira. Yabadde atudde ku katebe ak'ekibbo yagenze okuwulira ng'ekintu kimuyingidde mu sikaati n'ekyaddiridde kunyooka mukka n'ebyazzeeko teyabitegedde.
Ono ajjanjabirwa ku kalwaliro ka Acute Medical Center. Yafunye ebiwundu bibiri ebinene mu bisambi n'ekirala ku mukono nga kino kituukira ddala ku ggumba.
Harriet Nakwedde akwatidde NUP bendera ku kifo ky'omubaka omukyala e Kayunga amulambuddeko mu ddwaaliro n'asaba poliisi okuvaayo eyambe omukyala ono kubanga ye taata era maama w'abaana be ng'ate talina buyambi bumwongerayo mu ddwaaliro erisingako.