
Sheikh Nuhu Muzaata.
Sheikh Nuhu Muzaata afudde ku Lwokutaano nga December 4, 2020.
"Innalilahi wainailayhi Rajoun?
Sheikh Nuhu Muzaata afudde. Nsaba Allah atugumye mu kiseera kino ekizibu''. Omubaka Latif Ssebagala, Imaam wa palamenti ya Uganda bwe yawandiise ku face book.

Wiiki bbiri emabega, Muzaata yatwalibwa mu ddwaaliro lya International Hospital mu Kampala ng'alumizibwa.
Supreme Mufti, Sheikh Siliman Kasule Ndirangwa, yabadde agambye ku Lwokuna nti Sheikh Muzaata ali mu mbeera nnungi nga basuubira okumusiibula essaawa yonna n'awakanya n'ebigambibwa nti yaweebwa obutwa.
Muzaata yabadde dayirekita wa Dawa era omwogezi w'ekiwayi ky'omuzikiti gw'e Kibuli, abadde musomesa, kansala mu by'obufumbo ate omwogezi w'oku mikolo ng'era tatya biduduma.
Yazaalibwa mu bitundu by'e Bwaise mu Lufula Zooni mu myaka gya 50 nga kitaawe ye mugenzi Adam Muzaata.