
Pulezidenti Museveni (ku kkono), Sipiika Kadaga, Capt. Mike Mukula ne Minisita Mbayo mu kunoonya akalulu ka Museveni mu bitundu by'e Busoga.
OLUVANNYUMA lwa Pulezidenti Museveni okukomekkereza okunoonya akalulu k'Obwapulezidenti mu Busoga, abakulembeze b'omu kitundu kino nga bakulembeddwa Sipiika Rebecca Kadaga, balambise ebintu bye baagala akoleko bamuyiire obululu. Ekitundu kya Busoga kirimu disitulikiti 11 okuli; Jinja, Kamuli, Buyende, Luuka, Namayingo, Bugiri, Kaliro, Mayuge, Namutumba, Bugweri ne Busiki.

Sipiika Kadaga ye mubaka omukyala owa disitulikiti y'e Kamuli era yeebazizza Pulezidenti Museveni olw'enkulaakulana gy'aleese mu bitundu byayo kyokka n'alambika ensonga ezisoba mu 10 ze beetaaga okubakolerako.
- EBIKAJJO Busoga emanyiddwa nnyo mu kulima ebikajjo bye bakolamu sukaali era bikwatiridde ebyenfuna by'abantu mu kitundu kino. Wabula ku mulundi guno, abalimi b'ebikajjo ge bakaaba ge bakomba olw'okubulwa abigula ate ng'ababa bafunye abaguzi, babadondola. Abatuuze baayo bagamba nti kino kibaleka mu mabanja ge beewola mu banka nga tebalina nsimbi ze bazzaayo. Sipiika yasabye Pulezidenti okudduukirira abalimi bano ne ssente basobole okwebbulula ate era n'asaba Gavumenti okubaako n'omukono mu makolero ga sukaali abalimi b'ebikajjo baleme kunyigirizibwa nnyo nga babadondola.
- YUNIVASITE: Emyaka giweze 3 bukya yunivasite y'e Busoga eggalwawo. Abaayo basabye Pulezidenti, yunivasite eno eggulwewo kuba yali eyambye kinene mu kuwa emirimu abantu mu kitundu kino n'okubangula abayizi.
- ENNYANJA Sipiika yaloopedde Pulezidenti nga abamagye abaateekebwa ku nnyanja Kyoga, bwe bayitirizza okutulugunya abavubi nga basaba abeeko kyakolawo okukomya omuze guno .
- ENGUUDO Sipiika yajjukizza Pulezidenti nti azze abasuubiza okubakolera enguudo ezimu kyokka ne zitakolebwa. Yanokoddeyo olwa Jinja - Budondo - Mbulamiti Road n'enguudo endala eziyingira mu byalo.
- Baasabye okubateerayo ekibangirizi ky'abannamakolero e Jinja kiyambeko mu kulwanyisa ebbula ly'emirimu naddala mu bavubuka n'okusitula ennyingiza y'abantu .
- Ssente z'emyooga baasabye okusoosoowazibwa olw'obwavu obufumbekedde e Busoga ng'abavubuka bangi beetaaga emirimu gye batandikawo.
- Sipiika yannyonnyodde Pulezidenti ng'abavubuka abavuga boda boda mu bitundu by'e Busoga bwe bayitirizza okunyunyuntibwa ababaguza piki zino ku looni. Yasabye Pulezidenti awe buli SACCO omwegattira aba boda boda obukadde 100.
- Okubakolera amalwaliro, okwongera okulongoosa ebyenjigiriza. Bino byebimu bye beetaaga Pulezidenti okubakolera okulaba nga Busoga yeeyongera okukulaakulana. BAMINISITA ABAVA E BUSOGA: Mu ngeri y'emu, minista avunaanyizibwa ku nsonga za Pulezidenti ate era nga ye mubaka omukyala owa disitulikiti y'e Luuka, Esther Mbayo yategeezezza Pulezidenti ng'enjawukana mu bakulembeze ba NRM e Busoga bwe zeeyongedde n'amusaba okwongera okubatabaganya wabeewo obumu. Minista omubeezi ow'Ebyettaka ate era nga ye mubaka owa Bukono County, Persis Namuganza yasiimye Pulezidenti olw'obutebe-nkevu mu ggwanga n'amusiima olw'okuwangula omuyeekera Lakwena eyali amazeeko ab'e Busoga emirembe. Omumyuka wa ssentebe wa NRM mu buvanjuba, Capt. Mike Mukula yategeezezza nga kampeyini za Pulezidenti mu buvanjuba bwe zitambudde obulungi n'amukakasa nti abantu mu kitundu kino baakumuyiira obululu ebitundu ebitakka wansi wa 80 addemu alye entebe y'Obwapulezidenti.