TOP

Nnyina w'omuvubuka eyakubwa amasasi alaajanye

Added 7th December 2020

Famire y'omuvubuka Brian Mbajjo 20, makanika wa mmotoka ku siteegi y'e Kasambya balaajanidde gavumenti ebayambe okujjanjaba omwana waabwe eyakubwa amasasi mu lubuto.

Mbajjo eyakubwa amasasi ng'ali ku ndiri.

Mbajjo eyakubwa amasasi ng'ali ku ndiri.

Famire y'omuvubuka Brian Mbajjo 20, makanika wa mmotoka ku siteegi y'e Kasambya balaajanidde gavumenti ebayambe okujjanjaba omwana waabwe eyakubwa amasasi mu lubuto.

Nnyina wa Mbajjo ng'amugumya. Bakyali mu ddwaaliro.

Nnyina Margaret Nalusagi agamba nti ssente z'obujjanjabi mu ddwaaliro lya Kyotera Medical Centre zibayinze. Mbajjo yakubwa amasasi gye buvuddeko abantu bwe baali beekalakaasa gye buvuddeko poliisi bwe yakwata omukulembeze wa NUP, Robert Kyagulanyi Ssentamu ne bamusibira mu kkomera e Nalufenya.

Nalusagi yategeezezza nti mutabani we baamulongoosaamu essasi eryali liwagamidde mu nkizi kyokka okuva olwo yasannyalala ekitundu ekya wansi okuva mu kiwato nga mu kiseera kino yeetaaga obujjanjabi obw'enjawulo ng'ate talina ssente.

Nnyina Margaret Nalusagi asaba abazirakisa okumuyambako nga bayita ku ssimu 0704897070.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Abasomesa nga baweebwa ebigezo by'amasomero gaabwe.

Enkuba teremesezza bigezo k...

Wadde ng'enkuba yakedde kutonnya mu bitundu by'omu disitulikiti y'e Kalungu teyalemesezza bakulu b'amasomero kunona...

Omuzibizi wa Arsenal eyafun...

Tierney yafunye obuvune mu vviivi era asuubirwa okumala ebbanga eriwerako nga tazannya wabula Arteta agamba nti...

Bassita ba Leicester bameny...

TTIIMU ya Leicester eraze lwaki abazannyi baayo basatu baayo basatu tebaazannye mupiira gwa Premier, West Ham bwe...

Wabaddewo vvaawompiteewo n...

WABADDEWO vvaawompiteewo ku kisaawe kya MTN Arena e Lugogo ng'abakungu ba FUFA balondesa abakulembeze b'omupiira...

Abamu ku bayizi be basabidde.

Abayizi ba S.6 babuuliriddw...

ABAYIZI ba S6 babuuliriddwa okutwala ebigezo eby'akamalirizo bye batandika enkya ng'ensonga kuba kati batandise...