TOP

Dr. Sarah Nkonge agudde ku kabenje

Added 7th December 2020

Dr. Sarah Nkonge omu ku bavuganya ku kifo ky'omubaka omukyala owa Lwengo asimattuse okufiira mu kabenje. Mmotoka ye ekika kya Prado TX nnamba UAS 982Y etomedde omwana Shadia Namuwaya 9 abadde ku mabbali g'oluguudo ne yeefuula emirundi esatu n'amenyeka n'okufuna ebisago eby'amaanyi wamu ne ddereeva we. Akabenje kano akafunidde mu bitundu by'e Kayabwe ku luguudo lw'e Masaka kumakya ga leero.

Sarah Nkonge ku kitanda.

Omusawo ng'ajjanjaba ddereeva wa Sarah Nkonge.

Poliisi y'e Kayabwe eyanguye okutuuka mu kifo kino n'abadduukirize ne baddusa Sarah Nkonge, ddereeva we Vianney Mugenyi ne Shadia Namuwaya mu ddwaaliro enkozi gye bapooceza n'ebisago.

Omwana Sarah Nkonge gwe yatomedde.

Mutabani wa Dr. Nkonge, Hamfrey Muwonge ategeezezza nti akabenje kandiba nga kaavudde ku ddereeva wa nnyina (Vianey Mugenyi) abadde akooye wadde nga ye agamba nti yeekanze kabangali ebadde egezaako okubeekiika mu maaso n'awaba n'atomera omwana.

Mmotoka Sarah Nkonge mwe yabadde.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ali Kalungi eyali RDC we Otuke, Rev. Peter Bakaluba Mukasa ssentebe wa LCV omulonde ne RDC Fatumah Ndisaba Nabitaka mu lutuula lwa  kanso y'e Mukono.

Mukono bayisizza ekiteeso N...

Abakiise ku lukiiko lwa disitulikiti y'e Mukono bakanyiiza ne bayisa ekiteeso eky'e Ssaza ly'e Nakifuma okwekutula...

Abaana nga basena amazzi amacaafu.

Ab'e Rakai amazzi ge banywa...

Abatuuze mu byalo eby’enjawulo mu ggombolola y’e Ddwaaniro ne Kagamba mu Ssaza ly’e Buyamba mu disitulikiti y’e...

Omusajja ng'alaga ebintu ebyasangiddwayo.

Ab'e Nateete beemulugunya k...

Abatuuze b’e Nateete baddukidde ku poliisi ne bagisaba ekwatagane n’ekitongole kya KCCA okulaba nga bamenyawo ebiyumba...

Abasiraamu nga banyumyamu.

Bayimamu twemweyingiza mu b...

DISITULIKITI Khadi w’e Lwengo, Sheikh Ismail Ibrahim Kibuule asisinkanye Abasiraamu okuva mu mizigiti egy’enjawulo...

Pasita Caleb Tukaikiriza ng'ayogera mu lukiiko. Ku ddyo ye Bbaale.

Abawala 300 mu Kalungu bazz...

OMUBAKA wa Gavumenti, Pastor Caleb Tukaikiriza agugumbudde abazadde abatatuukirizza buvunaanyizibwa bw’okukuuma...