TOP

Abasuubuzi b'e Kasubi bayingidde akatale akapya

Added 8th December 2020

Abaserikale nga balawuna akatale.

Abaserikale nga balawuna akatale.

Poliisi ekkakkanya obujagalalo n'abaserikale b'ekitongole kya KCCA baakedde kuyiibwa ku katale k'e Kasubi okugobawo abasuubuzi ababadde balemedde ku kkubo nga bakyagaanyi okuyingira akatale akapya.

Ekimmotoka nga kisenda awaabadde akatale.

Bano baakedde kuyisaamu bizindaalo nga babalabula okujjawo ebintu byabwe mu mirembe nga tebabyonoonye. Abasuubuzi olwawulidde bino ne batandika okwetala nga n'abaabadde bakyalemedde mu kkubo ne batandika okusomba ebintu byabwe wakati mu kuyomba nga bawoza nti akatale gye babasindika kafunda.

Akatale akapya nga bwe kafaanana.

Mu kiseera kye kimu n'omulimu gw'okukola oluguudo lw'e Kasubi gutandise era ebimmotoka bi weetiiye bitandise okusenda. N'abasuubuzi abasinga bamalirizza okusengula emmaali yaabwe era we babadde bava ebimmotoka we bisenda.

Abasuubuzi nga basengula emmaali yaabwe.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Sheikh Mulindwa ng'asaaza Idd e Luweero.

'Gavumenti eyalayidde erwan...

Sheikh Mulindwa ku muzigiti gw'e Kasana Luweero. Ba Samuel Kanyike           DISITULIKITI Khadi wa Luweero,...

Lubega akulembedde ne Amatos ku kkooti e Makindye.

Abaali bafera paasita basin...

ABASUUBUZI b'omu Kampala basindikiddwa mu kkomera lwa kugezaako kufera Paasita ssente ezikunukkiriza mu buwumbi...

Spice Diana asiibuludde aba...

Bya Mukasa Lawrence  ABAYIMBI okuli Spice Diana ne munne Fik Femaika bavuddeyo ne baduukirira abasiraamu ku...

Abakozi ba Rock bavudde mu ...

Bya Phoebe Nabagereka Abakozi mu kampuni ya Roko e Gerenge mu town council ye Katabi bekalakasiza nga balaga...

FDC evumiridde effujjo erik...

Bya Doreen Namaggala AMYUKA ssabawandiisi w'ekibiina ki FDC, Arnold Kaija asabye bannayuganda okukomya okutiisatiisa...