TOP

Poliisi gwe yamenya omukono alaajanye

Added 8th December 2020

THOMAS Bagonza ssentebe wa LC1 mu Kimmwaanyi Zooni e Katanga Wandegeya alaajanidde abazirakisa okumuddukirira afune ssente okumulongoosa omukono.

Ssentebe Bagonza ali ku ndiri.

Ssentebe Bagonza ali ku ndiri.

THOMAS Bagonza ssentebe wa LC1 mu Kimmwaanyi Zooni e Katanga Wandegeya alaajanidde abazirakisa okumuddukirira afune ssente okumulongoosa omukono.

Bagonza yamenyeka omukono poliisi bwe yali emukwata ku bigambibwa nti yali akuma mu bantu omuliro okwekalakaasa bwe yali ekutte omubaka Robert Kyagulanyi Ssentamu avuganya ku ntebe y'obwapulezidenti.

Agamba nti yali atambula abantu abataategeerekeka ne bamuvumbagira ne bamuyingiza akammotoka kyokka mu kugezaako okubalwanyisa baamukuba bubi nnyo ne bamumenya omukono n'engalo era teyaddamu kutegeera.

Agamba nti yaddamu okutegeera nga wayise ennaku bbiri ng'ali mabega w'amitayimbwa n'asaba okumutwala mu kkooti avunaanibwe bw'aba alina omusango.

Bwe baamutuusa mu kkooti nga tewali bujulizi ne bamuta era abaserikale be baamuvuga ekiro ne bamuzzaayo e Wandegeya gye baamusuula.  Eno abazira kisa gye baamusanga ne bamutwala mu kalwaliro ka Cotex gye baamuweera obujjanjabi obusookerwako.

Bagonza agamba nti mu kaseera kano talina yadde ekikumi ekimujjanjaba n'asaba gavumenti okuvaayo bamuyambe asobole okufuna obwenkanya kubanga tabeerangako mu beekalakaasi kwe baagatta n'okumumenya omukono.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Fr.Tamale

Fr. Tamale waakuziikibwa Bu...

Fr.  Joseph Tamale 39 afudde oluvannyuma lw'okutawaanyizibwa ekirwadde kya Puleesa n'ensigo. W'afiiridde, abadde...

Omutaka Gabunga, Mubiru  (wakati) ne Benon  Kibuuka (ku ddyo) ng'abasabira omwoyo gwa Ssaabasumba e Lubaga.

Bannaddiini musse ekitiibwa...

OMUTAKA Gabunga,Mubiru Zziikwa owookubiri, asoomoozezza Bannaddiini ku kussa ekitiibwa mu buwangwa n'Ennono. ...

Betty Maina (ku kkono) , minisita Oryem ne Amelia Kyambadde oluvannyuma lw'okussa omukono ku ndagaano.

Gavt. ya Uganda ne Kenya zi...

GAVUMENTI ya Uganda ne Kenya zitadde omukono ku ndagaano egendereddwaamu okumalawo emiziziko egibaddewo wakati...

Lukyamuzi ne Kasibante.

Lukyamuzi ne Kasibante bavu...

ABALWANIRIZI b'eddembe ly'obuntu bawakanyizza emisolo emipya gavumenti gy'ereeta mu mbalirira y'ebyensimbi ey'omwaka...

Abasiraamu nga basimba ekipande ku poloti eyassibwa ku ttaka ly'Omuzikiti  e Kiyunga mu Mukono era ekifo baakyeddiza.

Abasiraamu beddizza ettaka ...

ABASIRAAMU b'omu disitulikiti y'e Mukono abali wansi wa Mukono Muslim District Council batandise okweddiza ettaka...