TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Akakiiko k'eddembe ly'obuntu kasattira lwa ssente

Akakiiko k'eddembe ly'obuntu kasattira lwa ssente

Added 9th December 2020

Katebalirwe mu lukiiko lwa bannamawulire.

Katebalirwe mu lukiiko lwa bannamawulire.

Akakiiko k'eddembe ly'obuntu kali mu kusattira olw'ebbula ly'ensimbi, ekizingamizza emirimu. Bino byogeddwa Ssentebe w'akakiiko kano, Amooti Kateebalirwe mu lukung'aana lwa Bannamawulire olutudde ku kitebe ky'akakiiko kano  ku Twed Plaza mu Kampala.

Babadde batongoza emikolo gy'okukuza olunaku lw'eddembe ly'obuntu mu nsi yonna olugenda okubaawo  ku Lwokuna nga December 10, 2020. Kateebalirwe agambye nti akakiiko kali mu kattu kubanga tekalina ssente zikasobozesa kutambula kwetooloola ggwanga, okusomesa abantu eddembe lyabwe n'okubalwanirira mu mbuga z'amateeka.

Emmotoka ezitambuza emirimu gy'akakiiko nazo  zaafuuka dda ganyegenya, ng'ezimu zaatuula ate ze basobola okuwaliriza tezitambula ngendo mpanvu. Agasseeko nti obutaba na Ssentebe w'akakiiko alondeddwa mu mateeka nakyo kibakosezza nnyo kubanga mu kiseera kino alipoota ekwata ku ddembe ly'obuntu ey'omwaka oguwedde tennaba kufulumizibwa wadde nga yaggwa dda okukola. Kino kivudde ku butabaawo bwa ssentebe w'akakiiko alina okuteeka omukono ku lipooti eno mu mateeka nga tennafulumizibwa.

Eyali Ssentebe w'akakiiko kano Al-Hajji Med Ssozi Kaggwa yafa mu November  2019. Ate  Ida Nakiganda akulira eby'amateeka n'emisango mu kakiiko k'eddembe ly'obuntu agambye nti baakafuna okwemulugunya kwa mirundi 15 okuva Kampeyini lwe zaatandika.

13 ku zino z'abaluganda lw'abantu abattibwa n'abaatuusibwako ebisago mu kwekalakaasa okwaliwo oluvannyuma lw'okukwatibwa kwa Robert Kyagulanyi eyesimbyewo ku bwapulezidenti ate ababiri baali beemulugunya ku kukwatibwa kw'abantu baabwe naye nga babagaanye okulaba famire zaabwe n'abasawo.

Ate ye Samuel Kiberu Nsubuga akulira ekitongole ekijjanjaba n'okubudabuda abantu abatulugunyiziddwa ekya African Centre for Rehabilitation of Torture Victims agambye nti okuva kampeyini lwe zaatandika baakafuna abantu 10 abali mukujjanjabibwa oluvanyuma lw'okutulugunyizibwa ab'ebyokwerinda.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omulabirizi Rt. Rev Kityo Luwalira ng'akwasa Ven. Canon Moses Banja ne mukyala we Rev. Can Dr. Banja Baibuli.

Mwongere okusabira Ssaabasa...

OMULABIRIZI w'e Namirembe Wilberforce Kityo Luwalira, akunze Obuganda okwongera okusabira  Ssaabasajja Kabaka,...

Dombo ng'annyonnyola.

Pulezidenti waakusooka kusi...

Omukulembeze w'eggwanga, Yoweri Kaguta Museveni asazeewo okutandika okusisinkana ababaka ba NRM abapya abaakalondebwa...

Katikkiro Mayiga ng’ayogera.

▶️ Ebibuuzo 10 eri Katikkir...

ABATAKA abakulu b'ebika n'abantu ab'enjawulo bavuddeyo ku byayogeddwa Katikkiro Charles Peter Mayiga ku mbeera...

Wakabi abatuuze gwe baakubye nga bamulumiriza okumenya ebbaala n'abba.

'Munsonyiwe okubba naye mu ...

KINYOZI bamukwatidde mu bubbi n'asaba bamusonyiwe kubanga  mu saluuni  temuli ssente zimumala kweyimirizaawo....

Abakungubazi nga bakungaanye okulaba agambibwa okumenya emmotoka n'abba eyakubiddwa mu kuziika Fr. Tamale .

Bakubye agambibwa okubba mu...

ABAKUNGUBAZI batebuse omubbi agambibwa okulabiriza Bafaaza nga bali mu Mmisa eyawerekedde munnaabwe Fr. Joseph...