TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Abookya ebyuma e Mbuya beesunga Gabula Ssekukkulu

Abookya ebyuma e Mbuya beesunga Gabula Ssekukkulu

Added 10th December 2020

ABOOKYA ebyuma aba James Lee Technical Services e Mbuya - Kinnawattaka batenderezza Bukedde olw'okubeera ettoffaali eddene mu mulimu gwabwe.

Abookya ebyuma ne kkopi za Bukedde mwe bajjuzza obukonge bwa Gabula Ssekukkulu.

Abookya ebyuma ne kkopi za Bukedde mwe bajjuzza obukonge bwa Gabula Ssekukkulu.

ABOOKYA ebyuma aba James Lee Technical Services e Mbuya - Kinnawattaka batenderezza Bukedde olw'okubeera ettoffaali eddene mu mulimu gwabwe.

Bano abaasangiddwa we bakolera nga bakulembeddwa James Musiitwa, baagambye nti Bukedde ng'ayita mu muko gwa ‘Akeezimbira' abasomesezza emisono gy'ebyuma bye bookya egiri ku mulembe gamba ng'enzigi, amadirisa, ebitanda n'ebirala ne bagamba nti tebasubwa lupapula lwa Bukedde naddala olw'Olwomukaaga olufulumya ‘Akeezimbira'.

Baggyeeyo obukonge bwa Gabula Ssekukkulu bwe bazze bajjuza ne bagamba nti beesunze lunaku lwa kukuba kalulu beewangulire ku byassava Bukedde by'abategekedde. Bakubirizza bannaabwe bwe bali mu mulimu guno bulijjo okutambulang n'enteekateeka za Bukedde.

Okwetaba mu kalulu kano gula kkopi y'olupapula lw'amawulire olwa Bukedde ku 1,000/- zokka, ogende ku muko ogwokubiri okuli akakonge. Jjuzaamu erinnya lyo, ennamba yo ey'essimu ne gy'obeera. Bw'omaliriza, akakonge kaleete ku ofi isi zaffe e Lugogo mu kibangirizi kya bannamakolero oba okawe agenti waffe eyo gy'oguze amawulire.

Ate ku Bukedde Fa Ma ‘Embuutikizi' linda oluyimba lwa Philly Lutaaya olwa "Merry Chrismas" nga luzannyiddwa. Bw'okuba essimu nga ggwe owookusatu, ojja kubeera muwanguzi ogende mu ‘supermarket' ya Mega Standard weefunire ebyassava. Ne ku Bukedde Ttivvi, bw'olaba oluyimba lwe lumu n'okuba essimu, obeera owangudde.

Gabula Ssekukkulu omwaka guno awagiddwa kkampuni y'ebyenkoko eya UgaChick, Mary and Jesus Wines ne Mega Standard supermaket. Abantu abalala abalina omutima omugabi bakyasobola okwegatta ku Bukedde okwongera ku birabo ebinaagabibwa mu Gabula Ssekukkulu.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Sheikh Mulindwa ng'asaaza Idd e Luweero.

'Gavumenti eyalayidde erwan...

Sheikh Mulindwa ku muzigiti gw'e Kasana Luweero. Ba Samuel Kanyike           DISITULIKITI Khadi wa Luweero,...

Lubega akulembedde ne Amatos ku kkooti e Makindye.

Abaali bafera paasita basin...

ABASUUBUZI b'omu Kampala basindikiddwa mu kkomera lwa kugezaako kufera Paasita ssente ezikunukkiriza mu buwumbi...

Spice Diana asiibuludde aba...

Bya Mukasa Lawrence  ABAYIMBI okuli Spice Diana ne munne Fik Femaika bavuddeyo ne baduukirira abasiraamu ku...

Abakozi ba Rock bavudde mu ...

Bya Phoebe Nabagereka Abakozi mu kampuni ya Roko e Gerenge mu town council ye Katabi bekalakasiza nga balaga...

FDC evumiridde effujjo erik...

Bya Doreen Namaggala AMYUKA ssabawandiisi w'ekibiina ki FDC, Arnold Kaija asabye bannayuganda okukomya okutiisatiisa...