
EKIKONDE kinyoose wakati wa Ssaalongo (ayambadde ovulo) ne Amir (ku ddyo) ku mwala gwa Kiyanja mu Kakungulu zooni e Kawempe. Baabadde bayombera ettaka erigogoddwa ttulakita mu mwala we lyabadde lirina okuyiibwa.
Ssaalongo yasoose kutabuka ng'agamba nti tayinza kukkiriza ttaka ligogoddwa mu mwala ttulakita kuliyiwa kukola kituuti ku poloti yaabwe.
Ttulakita yabadde ereeteddwa Kansala Muzamir Katumba Panadol ne Sarah Nakitto ab'omu kitundu kino egogole omwala guno ogufuuse ogw'obulabe mu kitundu.
Amir yayingidde mu nsonga n'alabula Ssaalongo obutalemesa ttulakita kugogola mwala kuba bano bakifunamu ekyabatabudde ne beekwata amataayi.
Wabula waliwo omukyala eyabadde ne Ssaalongo mu njogera ennyangu oyinza okumuyita kyakulassajja eyabakutte bombi ng'abalemesa okulwana okutuusa lwe bakkakkanye naye nga buli omu yeebuuza omukyala ono atatya kwesimba mu nnume.
Wabula wadde baataasiddwa, baasigadde buli omu awera. Oba waliwo ensonga zaabwe nga teziri ku bya ttaka lino ze batamalirizanga? Nze naawe.