
Lauben Muhabuzi (ku kkono) ng’ayogerako n’abamu ku basajja ku mukolo gwabwe.
Bino byogeddwa akulira ekibiina kya Men's Forum Against Domestic Violence, Lauben Muhabuzi ku mukolo gwabwe ogumalako omwaka ogw'omulundi ogwokubiri.
Muhabuzi yategeezezza nti mu kiseera eky'omuggalo gwa corona, amaka mangi gasasise olw'embeera y'obwavu obususse mu bantu.
Muhabuzi agamba nti ekisinze okuvaako embeera eno be bamu ku basajja abatayagala kukola nga beekwasa omuggalo gwa corona nti gwe gubalemesezza ne batuuka n'okusuulirira obuvunaanyizibwa bwabwe mu maka.
Muhabuzi yategeezezza nti wadde nga corona akosezza ebintu bingi, kyokka omuntu eyasangibwa ng'akola emirimu egy'enjawulo takoseddwa nnyo n'ategeeza nti omusajja akola emirimu egy'enjawulo tayinza kulemwa kulabirira maka.
Ono yasinzidde wano n'awa abasajja amagenzi okwenyigira mu bulimu obutonotono okulaba nga ebiseera ebisinga babimala mu kukola n'ategeeza nti teri
ngeri musajja akola gy'ayinza kufuna kirowoozo kulwanagana na mukyala we olw'okumusaba ebyetaago by'awaka.
Mu ngeri y'emu asabye abasajja okwettanira okutereka ku ssente ezo entono ze bafuna nga bayingira ebibiina by'obwegassi n'ategeeza nti kyangu nnyo okwewola mu kibiina naddala ku bizibu ebitonotono okusinga okuddukira mu bbanka ate ezibatwalako ebyabwe olw'amagoba amangi kwe ziwolera.
Oluvannyuma baasaze kkeeki gye baagabudde era nga buli musajja yabadde ateekwa okutwalirako ab'eka ng'akabonero k'okuzimba obuvunaanyizibwa mu basajja.