TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Bannaddiini baagala obujjanjabi bwa Palliative Care bwongerwemu ssente

Bannaddiini baagala obujjanjabi bwa Palliative Care bwongerwemu ssente

Added 19th December 2020

EKIBIINA ky’obwannakyewa ekya Palliative Care Association of Uganda nga kyegattidde wamu n’abakulu b’eddini okuva mu nzikiriza ez’anjawulo bayise gavumenti ne Bannayuganda bonna okumanya n’okukkiriza obwetaavu bw’enjijjanjaba ya palliative care mu nzijanjaba n’ebyobulamu by’eggwanga lyonna.





Palliative care bujjanjabi obwenjawulo obw'okubudabuda obuweebwa abalwadde abalina endwadde ez'olukonvuba n'ekigendererwa ky'okukendeeza ku bubonero n'okukakkanya obulumi wamu n'okumalawo situleesi eretebwa obulwadde buno.

Nga bali  mu lukungana olutegekebwa buli mwaka n'okusaba ebyategekeddwa ku Fairway Hotel mu Kampala olwategekeddwa ekitongole kya PCAU, era ng'essira lyatekeddwa ku kulabirira aba abalwadde abali obubi naddala mu kiseera kino ekya ssenyiga omukambwe.

Rev. Canon Daina Nkesiga owa St. Francis Chapel Makerere, yagambye nti omulwadde bwatuuka ekiseera nga yeesigamye ku balala oba okutandika okugwamu essuubi famire yonna ekosebwa. Era abalwadde balina okufiibwako ennyo.

Rev. Canon Rebecca Margret Nyegenye Provost All Saints Cathedral, Kampala ayakulembeddemu okusaba kuno yagambye nti abantu balina okukulembeza okuyamba abalala nga bakola emirimu gyabwe naddala mu kitingole kyebyobulamu abalwadde betaaga obujjanjabi bwa Palliative care.

" Togenda mu kitongole kufuna mulimu wabula ogendayo kuba olina omutima ogufaayo, ogwagala ate ogutuuka kwabo abetaaga obuyambi. Twetaaga abantu abafaayo okukwata ku bakadde, okuzzaamu amaanyi n'okubafaako. Yengeri gye tujja okusobola okubeera mu Uganda, nga twagala bannaffe. Waliwo abantu abafa naye nga tebafa lwakuba batuuse okufa naye kubanga tewali mukwano" Bwe yagambye.

Bwe yabadde ayogera ku Covid-19, Dr. Jackson Amone ‘commissioner clinical services', eyakikiridde Dr. Ruth Acheng minisita w'ebyobulamu eyabadde omugenyi omukulu, yagmbye nti omuwendo gw'abalwadde abali obubi abalina Covid -19 gweyongedde era Mulago n'amalwaliro amalala agalina ebifo awajanjabirwa abayi (ICU) gajjudde abalwadde.

"Abalwadde bano betaaga obujjanjabi bwa Palliative Care nga tebanafa. Waliwo n'abalwadde abalala abalina endwadde ez'olukonvuba nga nabo betaaga obujjanjabi bwa Palliative care kyokka nga ebitundu 11 ku buli 100 be babufuna bokka" bwe yagambye.

Yagambye nti Palliative Care bujanjabi bwa buli muntu omukulu n'omuto. Noolwekyo obujjajabi buno bukulu mu kiseera kino ekya Covid -19 okuyamba abantu bonna aby'emyaka gyonna nga bayambibwa abalwadde abali obubi abatasobola kussa bulungi, okwogeraganya nabo obulungi, okubabeererawo mu mbeera yonna mu malwaliro, awaka ne mu bitundu byabwe", Dr. Amone bwe yagambye.

Dr. Amone yayongeddeko nti gavumenti ekimanyi bulungi nti obujjanjabi obwa bonna busobola okutuukibwako nga waliwo okwetangira, okuwonya, okudaabulula n'enjinjanjaba ya Palliative Care.

Ate Mark Mwesiga, akulira Palliave Care Association of Uganda yasabye gavumenti okwongera ssente mu by'obulamu n'okutumbula obujjanjabi bwa Palliative Care.

Yakubiriza abantu okwongera okwekuuma obulwadde bwa Covid, okwambala masiki, okulekawo amabanga wakati waabwe, obutabeera mu bifo birimu bantu nbangi, bwe waba nga tewali nnyo nsonga omuntu yanyewaze okutambula kuba obulwadde bungi mu ggwanga. N'abo abaagala okugenda mu byalo okulya ennaku enkulu singa kisoboka bandikirese kuba bagenda kutwalira abakadde obulwadde nga babuggya eno mu kibuga ate obulwadde bwe bukwata ku bakadde bayisibwa bubi.

Mu lukungana luno era bagabiddemu awaadi eri abo bammemba abaasalawo okufuuka ekitundu ku palliative care obulamu bwabwe bwonna. Baakolezezza emisubbawa ng'enkola yabwe eyabulijjo mu kusaba okutegekebwa buli mwaka okuzaamu n'okujjukira abalwadde abalina endwadde ez'olukonvuba.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Fr.Tamale

Fr. Tamale waakuziikibwa Bu...

Fr.  Joseph Tamale 39 afudde oluvannyuma lw'okutawaanyizibwa ekirwadde kya Puleesa n'ensigo. W'afiiridde, abadde...

Omutaka Gabunga, Mubiru  (wakati) ne Benon  Kibuuka (ku ddyo) ng'abasabira omwoyo gwa Ssaabasumba e Lubaga.

Bannaddiini musse ekitiibwa...

OMUTAKA Gabunga,Mubiru Zziikwa owookubiri, asoomoozezza Bannaddiini ku kussa ekitiibwa mu buwangwa n'Ennono. ...

Betty Maina (ku kkono) , minisita Oryem ne Amelia Kyambadde oluvannyuma lw'okussa omukono ku ndagaano.

Gavt. ya Uganda ne Kenya zi...

GAVUMENTI ya Uganda ne Kenya zitadde omukono ku ndagaano egendereddwaamu okumalawo emiziziko egibaddewo wakati...

Lukyamuzi ne Kasibante.

Lukyamuzi ne Kasibante bavu...

ABALWANIRIZI b'eddembe ly'obuntu bawakanyizza emisolo emipya gavumenti gy'ereeta mu mbalirira y'ebyensimbi ey'omwaka...

Abasiraamu nga basimba ekipande ku poloti eyassibwa ku ttaka ly'Omuzikiti  e Kiyunga mu Mukono era ekifo baakyeddiza.

Abasiraamu beddizza ettaka ...

ABASIRAAMU b'omu disitulikiti y'e Mukono abali wansi wa Mukono Muslim District Council batandise okweddiza ettaka...