TOP

Akalulu ka Gabula Ssekukkulu kalondebwa leero

Added 21st December 2020

LEERO ku Mmande akalulu ka Gabula Ssekukkulu lwe kagenda okukwatibwa ku kitebe kya Vision Group okusunsulamu abawanguzi abagenda okwewangulira ebirabo ebyassava.

Abamu ku baafuna ebyassava bya Gabula Ssekukkulu omwaka oguwedde.

Abamu ku baafuna ebyassava bya Gabula Ssekukkulu omwaka oguwedde.

LEERO ku Mmande akalulu ka Gabula Ssekukkulu lwe kagenda okukwatibwa ku kitebe kya Vision Group okusunsulamu abawanguzi abagenda okwewangulira ebirabo ebyassava.

Enkoko za Ugachick nga bwefaanana.

Michael Ssebbowa Mukasa owa Bukedde avunaanyizibwa okutegeka akalulu kano yagambye nti, mu birabo ebigenda okuwangulwa mulimu enkoko za Ugachick, Wine wa Mary and Jesus, enkota z'amatooke, omuceere n'ebirungo byonna ebifumba. Akalulu kagenda kukwatibwa ku ssaawa 5:00 ez'omu ttuntu nga kalagibwa butereevu ku Bukedde ttivvi nga ne Bukedde FM bwe babiweereza.

Amannya g'abawanguzi gonna gajja kufulumira mu lupapula lwa Bukedde w'Olwokubiri era tosaanidde kumusubwa si kulwa nga bakutwalako ebya ssava nga totegedde. Abawanguzi bajja kukwasibwa ebirabo ku Lwokusatu nga 23, 2020 okutandika ku ssaawa 4:00 ez'oku makya.

Ebirabo bijja kugabibwa ku kitebe kya Vision Group e Lugogo mu Kampala. Ssebbowa yeebazizza bonna abeetabye mu kalulu. Abanaaba tebawangudde yabasabye obutaggwaamu maanyi kuba ekisinga obukulu kwe kwongera okufuna ebirungi ebiri mu lupapula lwa Bukedde.

Olupapula lwa Bukedde lufulumya amawulire agayigiriza era agazimba okugeza eby'enjigiriza, eby'obulamu, ebyobulimi, emboozi z'amaka n'ebirala bingi. Keefunire ku shiringi 1000 lwokka buli lunaku. Akakonge k'akalulu ka Gabula Ssekukkulu kamaze emyezi ebiri nga kafulumira mu lupapula lwa Bukedde buli lunaku.

Abantu babadde basalamu obukonge ne babujjuza n'oluvannyuma ne babuweereza ku kitebe kya Vision Group ate abalala ne babwereetera.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Arinaitwe owa Posita ne Nabakooba mu kutongoza ku mukolo.

Baleese enkola ya posita ey...

ABANTU basabiddwa okwenyigira mu nkola y’omutimbagano nga batambuza ebintu byabwe okuva mu kitundu ekimu okutuuka...

Omu ku bakyala mu katale k’e Wandegeya ng’alaajanira pulezidenti Museveni okuyingira mu nsonga zaabwe.

Mututaase ku mivuyo mu kata...

ABAKYALA abatunda emmere e Wandegeya balaajanidde Pulezidenti Museveni okuyingira mu mivuyo egiri mu katale kaabwe....

Omu ku bakyala eyakulembedde banne abafumba emmere mu katale k'e Wandegeya ng'alaajanira pulezidenti Museveni okuyingira mu nsonga ezibasoomooza mu katale.

Abakyala balaajanye ku mivu...

"Twagala pulezidenti ayingire mu nsonga zaffe kubanga tetuganyuddwa mu nteekateeka zonna ze yateeka mu katale...

Fr. Kabagira ne Fr. Henry Mubiru nga bassa ekimuli ku ntaana ya Ssaabasumba Joseph Kiwanuka mu Eklezia e Lubaga bwe baabadde bamujjukira.  Yafa nga February 22, 1966.

Abakkiriza bajjukidde Ssaab...

Ssabasumba Kiwanuka yafuuka ssaabasumba okuva mu 1960 okutuuka bwe yafa mu 1966.

Amagye nga gazinzeeko enfo omubadde mutenderwa ababbi mu kibira kye Kapcheli.

Amagye galwanaganye n'ababb...

Mu kikwekweto ekyakoleddwa amagye ne poliisi, baazingizza ekibira ky'e Kapcheli abazigu bano mwe babadde beekweka...