
Okecho eyatemye abaana nga bamusibye ku mpingu. (Ebif. Mukasa Kivumbi)
OMUSAJJA akomyewo ekiro ng'atamidde n'akonkona abaana be ne balwawo okumuggulira. Avudde mu mbeera n'abatematema ate bwe bukedde n'abasibira mu nnyumba n'addayo okunywa omwenge.

Bw'abadde mu kirabo ky'omwenge, atandise okwogera ebitakwatagana banne kwe kufunamu okutya ne bagenda ewuwe balabe ebifa ku baana. Bagenze okutuukayo nga batonnya musaayi.
Bwe bababuuzizza kye babadde ne bategeeza nga kitaabwe bwe yabatemye. Bakutte abaana ne babatwala mu ddwaaliro nga bavaamu omusaayi. Abamu baanyiize olw'ekikolwa kya munnaabwe ne bamukwata ne bamukuba nga bamulanga obulagajjavu okutema abaana ate n'abaleka mu nnyumba n'addayo okutamiira.
Bino bibadde ku Kyalo Kizigo mu Divizoni y'e Najjembe mu Lugazi Municipality mu Disitulikiti y'e Buikwe. Abatuuze era baakutte munnaabwe ono Moses Okecho ne bamutwala ku poliisi nga baagala ajjanjabe abaana be kyokka poliisi nneeragira basooke bamutwale mu ddwaaliro naye afune obujjanjabi kubanga naye abadde alabika bubi.

Abatuuze baatutte Okecho mu ddwaaliro lya St. Charles Lwanga Buikwe kyokka bwe baamutuusizzaayo n'ayagala okuddukayo kwe kukubira poliisi eyazze n'emuteeka ku mpingu. Oluvannyuma yamuggyeyo n'emutwala n'emuggalira.
Abaana bano kuliko: Ronaldo Kasozi (9) ne Omen Wilson (8). Baagambye nti kitaabwe yasooka kubagya waka n'abatwala ewa Jjajja waabwe Irine Namaganda ku kyalo Buwuma ekiriraanye Kizigo ne bavaayo olw'embeera.
Kasozi yategeezezza nti kitaabwe yakozesezza ekisaanikira kya sseffuliya eyakazibwako erya ‘'Bbolingo'' okubatema. Sentebe wa LC II ow'omuluka Kizigo Paulo Zaabadda agambye nti abatuuze babadde banyiivu olw'ekikolwa kya munnaabwe. Yategeezezza nti nnyina w'abaana bano yanoba nga bba ayagala kumutta. Abaserikale baagambye nti Okecho bagenda kumukolera fayiro bamuweereze e Lugazi.