
Nassolo ng'alaga oganayiza gy'oyinza okuwa omuntu wo. Agamba ne masiki nakyo kirabo kirungi mu kiseera kino. (Ekif. Ponsiano Nsimbi).
Ebula ennaku bbiri zokka tutuuke ku mazaalibwa ga Mukama waffe Yesu Kristu. Abantu bali mu keetalo nga bagula engoye, eby'okulya, eby'okunywa, ebirabo n'okugogola ennyumba zaabwe eggandaalo lya Ssekukkulu, okumalako 2020 n'okuyingira mu 2021 nga bali mu ssanyu.

Mu kiseera kino, wadde bangi babeera balowooza ku by'okulya n'okunywa bye bagenda okugulira abantu baabwe, waliwo n'ababeera batakula emitwe nga beebuuza ebirabo bye bagenda okuwa abantu baabwe. Oyinza okuba ng'ekirabo onoonya kya mwagalwa wo, omwami wo, mukwano gwo, abaana bo, bazadde bo oba muliraanwa ku kyalo. Kyokka bino bitawaanya era bangi bibatwalira obudde nga babirowoozaako okusalawo ekirabo ekituufu kye balina okugaba.

Jude Sserunjogi nnannyini kkampuni ya Jude Color Solutions ku Wilson Road mu Kampala agamba nti balina buli kika kya kirabo omuntu ky'ayinza okuwa omuntu we kyokka okusinziira ku mbeera gye tulimu ng'ekirwadde kya Corona kiyite ssennyiga omukambwe kitugoya, ekirabo kye wandisoose okulowoozaako yandibadde ‘'Masiki'' n'akacupa ka ‘'sanitayiza''.

Agamba nti masiki zino zikolebwa mu dizayini ez'enjawulo nga kuwandiikiddwako n'ebigambo eby'enjawulo ebiwaana oba okusinziira ku mulamwa. Agamba nti abantu balina okukimanya nti obulamu bwe bugagga ate bw'oba oli mulwadde n'eby'okulya tebiwooma. Yayongeddeko nti ate kino kye kirabo ekisinga okuba ekya layisi.

Ekirabo ekirala ekikulu ye ggwe okwekuuma. Kyandibadde kirungi n'osigala awaka wo n'abantu bo n'olema kutambula kugenda mu kyalo mu bazadde oba ab'enganda tomanya oyinza okubasiiga oba bbo okukusiiga ekirwadde kino ekitandise okubala abantu embiriizi. Kyokka agamba nti zino ennaku engeri gye ziri z'akulya, okunywa n'okuwummula, ku masiki oyinza okubagattirako eby'okulya n'okunywa. Bw'aba ali wala muweereze ssente yeegulire.

Ate Faziira Nassolo nga naye akola mu Jude Color Solutions agamba nti waliwo n'ebirabo ebirala bingi by'oyinza okugaba okusinziira ku muntu gw'okiwa ne bw'omuyita nga n'ebimu tebiboola.

Okugeza keeki. Olw'okuba tubeera tujaguza n'okwolesa okwagala eri banaffe, osobola okugiwa omuntu kabeere mwagalwa wo, mukwano gwo oba waaluganda lwo ate n'asanyuka. Ky'olina okukola kuteekako bubaka obuwooma nga keeki agirye nga bwafumiintiriza ebigambo by'omugambye.
Nassolo agamba nti eri abakkiriza, mu kiseera kino omuntu oyinza okumutonera ekirabo kya Bikira maria, Yosefu, omusaalaba oba bayibuli. Bino bw'obiwa omuntu omukkiriza, obulamu bwe bujja kudda bujja afune essanyu nga bwafumiintiriza ku mazaalibwa ga Mukama waffe Yesu Kristu.

Kyokka waliyo n'ebirabo ebirala nga kalifuuwa naddala ng'omuwa omuntu gw'oyagala, essaawa y'oku mukono, ebimuli, ekifaananyi ky'omuntu ng'okitadde ku bboodi, ddole, engatto n'engoye kyokka oteekwa okuba ng'omanyi sayizi y'omuntu gw'obigulira.
Bw'aba essanyu alifuna anyweddemu, oyinza okumugulira eccupa ya wayini, okumugulirayo ebirabo eby'enjawulo n'obisiba mu ngeri yettu n'obimuweereza, oba akasawo ak'omulembe eri abakyala naddala mukyala wo oba maama wo.
Kyokka ggwe alina abaana lowooza ku ky'okubagulira engoye. Bano bakimanyi nti buli lunaku olukulu balina okufuna engoye empya bw'oba olina ssente n'okulya wamu n'okunywa. Bw'obabuuza bye baagala lisiti teggwaayo kati bw'obagulira bye baagala ojja kuba obakoledde olunaku.
Wadde tulina obulwadde bwa ssennyiga omukambwe mu ggwanga, bw'oba olina omwagalwa wo osobola okumutwalako awutu ne mulya ekyemisana, ekyeggulo n'oluusi okusulayo nga mwesanyusa. Omuntu bw'omukolera kino ayinza okukwagala obulamu bwe bonna n'okumanya nti omufaako. Kyokka bino olina okubikola ng'ogoberera amateeka ga COVID 19.
Waliwo n'ebirabo ebirala ng'ebikopo ebiriko ekifaananyi ky'omuntu gw'oyagala, essaawa, eccupa y'amazzi oba oganayiza ebeera mu ofiisi.
Ye Patricia Namuddu ow'omu Kikuubo atunda ebirabo agamba nti ekirabo ky'owa munno kirina okuba nga kiva ku mutima gwo si kumuwa kutuukiriza mukolo. Agamba nti oyinza okumuwa kaadi kyokka olina okunoonya erabika obulungi ng'ate erimu obugambo obusonsomola n'okuwa essuubi.
Bw'oba omuntu oludde naye, oyinza okunoonyayo ekifaananyi ky'ayagala ennyo n'okiteeka ku bboodi. Eyinza okuba eyendabirwamu oba ey'olubaawo. Kuno ogattako ebigambo ebinaamuwa essanyu n'okumulaga nti ddala ofaayo.
Mwe abasajja n'abakyala abaakolamu, eeeeh munno oyinza okumuyiwamu enzirusi ne yeeyagala, ekyapa ky'ettaka oba okumuwaayo ku doola yeeyagale. Kyokka kino olina okukikola nga ssente weeziri si kugwa ku mabanja na kusinga bintu byo mu bbanka olw'okuba oyagala okusanyusa omuntu. Waliyo n'ebirabo ebirala bingi okusinziira ku busobozi. Bannange, mbaagaliza Amazaalibwa ga Mukama waffe amalungi. (Ebif. Bya Ponsiano Nsimbi ne Patrick Kibirango).