
Bp. Zziwa ng’annyonnyola. Ku ddyo ye Mgsr John Baptist Kauta, omuwandiisi w’olukiiko lw’Abasumba Abakatoliki mu ggwanga.
EKLEZIA Katolika ejjukizza ebitongole ebikuumaddembe okwewala okukozesa eryanyi erisusse ku Bannayuganda nga bakwasisa amateeka mu kujaguza Ssekukkulu.
Ssentebe w'olukiiko lw'Abasumba Abakatoliki mu ggwanga, Bishop Joseph Antony Zziwa, yasinzidde mu kuwa obubaka bwe obwa Ssekukkulu ku kitebe ky'abasumba e Nsambya n'ategeeza nti Ssekukkulu eranga mirembe nga noolwekyo ebitongole ebikuumaddembe byonna okuli; Poliisi n'amagye birina okwefumiitiriza ku bukulu bw'okujaguza Ssekukkulu nga bakola emirimu gyabwe kibayambe okwewala okwenyigira mu bikolwa ebityoboola eddembe ly'obuntu.
Bishop Zziwa yategeezezza nti Ssekukkulu kabonero kakulu nnyo akalaga ekisa n'okwagala n'ategeeza nti okuzaalibwa kwa Yezu kulaga nti Katonda yali amusindise okununula ensi okuva mu kibi. Yagambye nti wadde ng'abakuumaddembe bateekwa okukwasisa amateeka mu kiseera kino eky'okujaguza ennaku enkulu nti kyokka bateekwa okwewala okukozesa obukambwe obususse ku bantu baabulijjo wadde nga wabaddewo ensobi.
Bishop Zziwa yagambye nti okukozesa ttiyagaasi n'amasasi mu kiseera kino bisaanye okukendezebwa si nakindi babyewalire ddala kubanga tebireeta mirembe wabula okutta; ekikontana n'enjigiriza y'eddiini.
Yannyonnyodde nti Ssekukkulu y'omwaka guno, etuukidde mu kiseera kya Kkampeyini ezijjudde obukwakkulizo obw'amaanyi kyokka n'ajjukiza abaserikale nti abantu baba bacamufu mu biseera bya kkampeyini nga noolwekyo balina okukozesa obukugu obw'enjawulo nga bagumbulula enkung'aana za bannabyabufuzi mu kaseera kano akatono akasigaddeyo okutuuka ku lunaku lw'okulonda.
Bp. Zziwa yalabudde abantu okwewala okukola effujjo n'okusosonkereza abakuumaddembe nga bakola emirimu gyabwe n'ategeeza nti ebikolwa ebyo bisiga obukyayi ekintu ekitali kirungi. Yasabye akakiiko k'ebyokulonda okwongeramu amaanyi mu kusomesa Bannayuganda ku by'okulonda okulaba ng'abantu bonna beenyigira mu kulonda kwa 2021.
Mu ngeri y'emu Bishop Zziwa, yayozaayozezza Bannayuganda okuyita mu 2020 ogubadde gujjudde okusoomozebwa olw'ekirwadde kya ssennyiga omukambwe ekisse abantu ko n'okusannyalaza ebyenfuna n'abaagaliza Ssekukkulu ennungi n'omwaka 2021 ogujjudde emirembe n'essanyu.