
Brig. Gen. Flavia Byekwaso ng'ayogera ne bannamawulire.
BANNAMAWULIRE beekandazze ne bava mu lukung'aana lw'ebitongole ebikuuma ddembe nga baagala babeetondere olw'effujjo ssaako obuvune obubatuusibwako ebitongole bino nga bakola emirimu gyabwe.

Okwekandagga kuno bakukoledde ku 'Uganda Media Centre' mu Kampala ku Mmande nga balaga obutali bumativu olw'engeri abeebyokwerinda gye babatulugunyamu.
We bakoledde kino omukungu wa UPDF: Brig. Gen. Henry Masiko, abadde atandise okwogerako gye bali okubategeeza ku bikujjuko byabwe ebya Tarehe Sita eby'omulundi ogwa 40 ebibeerawo buli February 6.

Bannamawulire abenjawulo bazze batulugunyizibwa nga bakola emirimu gyabwe ng'abasembyeyo kuliko: Ashraf Kasirye (Ghetto Media), Daniel Lutaaya (NBS TV) and Ali Mivule (NTV Uganda) abaakubiddwa ku Ssande mu bitundu by'e Masaka.