TOP

Munnamawulire wa Bukedde ayimbuddwa

Added 28th December 2020

BANAMAWULIRE mu kibuga Mukono bagumbye ku poliisi enkulu e Mukono ne bateeka ku nninga abagikulira okuyimbula munnaabwe David Musisi Kalyankolo owa Bukedde TV eyakwatiddwa.

Kalyankolo (wakati) ne banne nga yaakayimbulwa.

Kalyankolo (wakati) ne banne nga yaakayimbulwa.

BANAMAWULIRE mu kibuga Mukono bagumbye ku poliisi enkulu e Mukono ne bateeka ku nninga abagikulira okuyimbula munnaabwe David Musisi Kalyankolo owa Bukedde TV eyakwatiddwa. 

Kigambibwa yabadde akwata ebifaananyi by'omukyala Hellen Nakivumbi omutuuze w'e Nama mu disitulikiti y'e Mukono eyabadde agumbye ku poliisi ng'ayagala okunnyonnyolwa wa bba   Yuuya Kamya eyawambibwa ku Lwokusatu lwa wiiki ewedde gyali.

 Kamya y'omu ku bantu 11 abawagizi ba NUP abawambibwa gye buvuddeko e Nama ne Kyampisi, nga n'okutuusa kati tamanyiddwako mayitire. Mu kwogera n'omukyala ono, akulira  okunoonyereza ku misango ku poliisi enkulu e Mukono D/ASP Fred Oyaka yalagidde bakwate Kalyankolo ng'amulaga kukola mawulire agakuma omuliro mu bantu.

Kalyankolo ategeezezza nti yabadde agezaako okukwata ebifaananyi, Oyaka kwe kumukwata n'okumulagira asangulemu ebifaananyi n'oluvannyuma n'amusiba mu kaduukulu.

Bannamawulire baakung'aanye ne bateekawo embeera eyawalirizza omudduumizi wa poliisi mu kitundu kino okulagira Kalyankolo ayimbulwe awatali kakwakulizo Oyaka kye yaziimudde n'aggulwako omusango gw'okukuma mu bantu omuliro era n'ayimbulwa ku kakalu ka poliisi.

Abamu ku banamawulire abakolera e Mukono baagala poliisi eggyeko munnaabwe ebisango bye yamutaddeko, kuba tebirinaako bujjulizi ng'ate ensonga gye yabadde agoberera ntuufu.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Abazinyi nga basanyusa abantu.

Kibadde kijobi nga Fr. Kyak...

EMBUUTU zibuutikidde ekifo ekisanyukirwamu ekya John Bosco Ssologgumba e Lukaya mu Kalungu. Zino zipangisiddwa...

Bannyabo

▶️ BANNYABO:Lwaki abazadde ...

▶️ BANNYABO:Lwaki abazadde batugobya abaami baffe?

Akeezimbira

▶️ AKEEZIMBIRA; Enkokoto en...

▶️ AKEEZIMBIRA; Enkokoto entuufu gy'osaanidde okuyiwa ku kizimbe.

Bannyabo; Nakazinga ng'annyonnyola

▶️ BANNYABO; Abazadde bwe b...

▶️ BANNYABO; Abazadde bwe bakugaana omwami weeyisa otya?

Kakooza ng’alaga bwe yabuuse ekikomera.

Poliisi eyogezza eyakwatidd...

POLIISI eyogezza omusajja eyakwatiddwa ku by'okumenya n'okubba amaka we bazaala omugenzi Ssaabasumba Cyprian Kizito...