TOP

Gwe mbadde nteekateeka okuwasa yanfera omukwano

Added 28th December 2020

Mpungu

Mpungu

KIBI abakazi okufuula emibiri gyabwe ebyenfuna. Nze gwe mbadde nteekateeka okugenda mu bakadde be nakizudde luvannyuma nti mufumbo. Nze Isaac Mpungu 30, mbeera Kawempe.

Siwasanga ku mukyala yenna naye mu 2019 namalirira ne nfuna omuwala eyang'amba nti abeera mu bazadde be. Twatandika okwagalana buli kimu ne nkimuwa ate mu budde kuba nnali musiimye. Yantegeeza nga bwe yali talina musajja yenna ekyannyongera amaanyi ne nkola nnyo okulaba nga simulumya.

Abadde ajja ewange n'anjoleza engoye n'emirimu emirala nga n'oluusi asulayo ennaku eziwera ate oluvannyuma n'antegeeza nga bw'addayo mu bazadde be wamma ne ndowooleza ddala nti nafuna omuntu. Nga wayise ebbanga, yantegeeza nga bwe yali afunye olubuto ekintu ekyansanyusa kuba ye mwana wange abadde alina okusooka mu bulamu bwange kale ne muwa buli kye yeetaaga obutamujuza.

N'ebintu ebikozesebwa mu kuzaala ne ssente z'eddwaaliro gye yazaalidde nze nazisasudde ng'amaze okuzaala. Omwaka guno namusabye ategeeze abazadde nga bwe nnali njagala okweyanjula mu butongole olwo n'atandika okwogera ebitakwatagana nti nnindeko naye nga tawa nsonga ntuufu.

Namugumya nga ndowooza nti osanga yali atidde ssente ne mugamba nti ssente z'okutegeka omukolo nja kubakwasizaako. Yakiwakanyiza ddala ng'agamba nti abazadde balina ssente ezisobola okwetegekera omukolo. Naye nagenze okunoonyereza ng'omuwala bulijjo mufumbo nga ne taata w'omwana omutuufu yamutuuma amannya ate nange ne mutuuma.

Bwe yategedde nti nkitegedde, kwe kunsaba musonyiwe. Ekyasinze okunnuma kwe kuba nti omusajja ono mumanyi kyokka nga bulijjo mmwagalira omukyala mu nsobi. Okuva omuwala oyo bye yankoze, mpulira ng'omutima gw'abakazi gwafudde n'okuwasa kiyinza okuntwalira ekiseera.

Nsaba abakazi bakomye okucanga abasajja kuba buli omu alina omutima gwa njawulo kati nange singa nalumbye musajja munnange ne mubuulira buli kimu oba ne nkaayanira omwana, ekyandizzeeko tekyandibadde kirungi.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Abasomesa nga baweebwa ebigezo by'amasomero gaabwe.

Enkuba teremesezza bigezo k...

Wadde ng'enkuba yakedde kutonnya mu bitundu by'omu disitulikiti y'e Kalungu teyalemesezza bakulu b'amasomero kunona...

Omuzibizi wa Arsenal eyafun...

Tierney yafunye obuvune mu vviivi era asuubirwa okumala ebbanga eriwerako nga tazannya wabula Arteta agamba nti...

Bassita ba Leicester bameny...

TTIIMU ya Leicester eraze lwaki abazannyi baayo basatu baayo basatu tebaazannye mupiira gwa Premier, West Ham bwe...

Wabaddewo vvaawompiteewo n...

WABADDEWO vvaawompiteewo ku kisaawe kya MTN Arena e Lugogo ng'abakungu ba FUFA balondesa abakulembeze b'omupiira...

Abamu ku bayizi be basabidde.

Abayizi ba S.6 babuuliriddw...

ABAYIZI ba S6 babuuliriddwa okutwala ebigezo eby'akamalirizo bye batandika enkya ng'ensonga kuba kati batandise...