
Banna NRM e Wakiso nga bayomba.
BANNAKIBIINA kya NRM mu disitulikiti y'e Wakiso abaabadde bagenze okufuna ssente zaabwe kyababuuseeko ate abazigaba bwe baabaleetedde poliisi n'amagye ne babagoba mu kifo awaabadde wagabirwa ssente.
Bano baakedde ku bbaala ya KR e Wakiso okukima ssente zaabwe ezaabasuubizibwa ku kunoonyeza aba NRM akalulu n'okukubisa posita, wabula bwe zaaweze ssaawa 10:00 ng'abasinga tebannafuna ne batabuka. Abaabadde bagaba ssente baalabye bitabuse kwe kukubira poliisi eyakulembeddwa OC wa Wakiso, Joseph Kamukama ng'ali wamu n'abaamagye ne babagoba.
Oluvannyuma poliisi yawadde abaabadde bagaba ssente obukuumi era ssente ne zitikkibwa ku kabangali ne zitwalibwa ku poliisi e Kakiri. Nga bakulembeddwa Ruth Mary Nalukaaga eyeesimbyewo ku bwakkansala omukazi akiikirira Naluvule ne Kyebando mu Wakiso, baategeezezza nti ensonga zino baakuziroopera pulezidenti