TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Aba NUP banenyezza abeebyokwerinda ku by'okufa kwa munnaabwe

Aba NUP banenyezza abeebyokwerinda ku by'okufa kwa munnaabwe

Added 30th December 2020

Fr. Ssentomero ng’ali ne bannakibiina kya NUP nga basabira omwoyo gw’omugenzi Ssenteza. Mu ssuuti ye Balimwezo, addiriddwa Paul Mugambe. Ku ddyo ye Faizo Kibirige.

Fr. Ssentomero ng’ali ne bannakibiina kya NUP nga basabira omwoyo gw’omugenzi Ssenteza. Mu ssuuti ye Balimwezo, addiriddwa Paul Mugambe. Ku ddyo ye Faizo Kibirige.

ABAWAGIZI b'ekibiina kya National Unity Platform (NUP) okuva mu munisipaali y'e Nakawa bennyamidde eri ebitongole by'ebyokwerinda bye bagamba nti bisusse okukozesa eryanyi ku bannansi ekivuddeko n'abamu okufi irwa obulamu. B

aasinzidde mu mmisa eyategekeddwa e Mutungo okusabira omwoyo gw'abadde omukuumi wa Bobi Wine, Francis Ssenteza eyafudde nga kigambibwa nti yatomeddwa mmotoka y'amagye, wadde ng'amagye gabyegaana.

Mmisa yakulembeddwa Rev. Fr. Joseph Ssentomero okuva mu kigo ky'e Bbiina eyasaasidde abeηηanda n'emikwano olw'ekikangabwa. Yagambye nti abakuumaddembe balina okukola emirimu gyabwe n'obukugu okulaba nga bakuuma abantu si kubaggyawo.Yennyamidde olw'abantu abafudde mu biseera by'okunoonya akalulu n'asaba abakwatibwako okweddako.

Mmeeya wa Munisipaali y'e Nakawa era nga y'akwatidde ekibiina kya NUP bendera ku bubaka bwa palamenti obwa Nakawa East, yalaalise abeebyokwerinda nti ekiseera kijja kutuuka bonna abakoze ebikolobero ku Bannayuganda bakwatibwe era bavunaanibwe.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Aba NRM e Wakiso baagala Mu...

ABA NRM mu Wakiso basabye Pulezidenti Museveni alung’amye ababaka nga balonda Sipiika wa Palamenti. Baagambye nti...

Abazinyi nga basanyusa abantu.

Kibadde kijobi nga Fr. Kyak...

EMBUUTU zibuutikidde ekifo ekisanyukirwamu ekya John Bosco Ssologgumba e Lukaya mu Kalungu. Zino zipangisiddwa...

Bannyabo

▶️ BANNYABO:Lwaki abazadde ...

▶️ BANNYABO:Lwaki abazadde batugobya abaami baffe?

Akeezimbira

▶️ AKEEZIMBIRA; Enkokoto en...

▶️ AKEEZIMBIRA; Enkokoto entuufu gy'osaanidde okuyiwa ku kizimbe.

Bannyabo; Nakazinga ng'annyonnyola

▶️ BANNYABO; Abazadde bwe b...

▶️ BANNYABO; Abazadde bwe bakugaana omwami weeyisa otya?