TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Olukiiko lwa kabineti lwakusala ku myaka abakadde kwebafunira ensako eya buli mwezi

Olukiiko lwa kabineti lwakusala ku myaka abakadde kwebafunira ensako eya buli mwezi

Added 30th December 2020

MINISITA w’abalema n’abakadde Hajat Sarah Kanyike agumizza abakadde nti emyaka kwe bafunira ensako yaabwe gavumenti egenda kugikendeezaako give mu 80 gikke ku 70.

Minisita Sarah Kanyike ng'akwasa omukadde ensako ye e Kayunga

Minisita Sarah Kanyike ng'akwasa omukadde ensako ye e Kayunga

Hajat Sarah Kanyini agamba nti ensonga zino yamaze okutuusa mu lukiiko lwa Baminisita (Cabinet) era lwe lulindiriddwa okusalawo.

Agamba nti gavumenti ekizudde ng'emyaka 80 omukadde kw'ateekeddwa okufunira ensako eya 25,000/- buli mwezi giri waggulu nnyo era bangi bakandaaliridde okuzifuna abamu ne batuuka okufa nga tebazikombyeko.

Minisita Sarah Kanyike bino abyogeredde Kayunga bw'abadde agabira abakadde 2,818 ssente 100.000/- buli omu ez'ensako gavumenti zeebawa buli mwezi nga zino za myezi ena okuli July, August, September ne October.

Agamba nti gavumenti era yakulowooza ku kwongeza ku mutemwa gwensimbi zino okuva ku 25,000/- ze bafuna  kati zeeyongereko.

Minisita Kanyike yagambye nti abakadde era balina n'ekizibu eky'emwaka egiri ku ndagamuntu nga abamu bakaddiye naye endagamuntu ziraga emyaka mitono ate abamu tebazirina era ku kino bamaze okuwandiikira abakulira abakozi ku disitulikiti zonna bakwatagane n'ekitongole ki NIRA batereeze ensobi zino abakadde bafune ssente.

Akulira enteekateeka eno e Kayunga Collins Kafeero Kiggundu agamba nti okuva mu mwaka gwa 2016 lwe baatandika okugabira abakadde, ssente 1,799,000,000/- ze zaakagabibwa era abakadde 2,818 be baganyuddwa.

Kafeero agambye nti ssente zino zikyusizza obulamu bw'abakadde era abaali baweddemu essuubi baatandika okwekkiririzaamu ate abamu bazikozesa okwejjanjaba, okwetuusaako ebyetaago n'abamu batandiseewo pulojekiti ezireeta ssente.

Abakadde basiimye gavumenti olwensako eno ebaweebwa era bawadde obujulizi ku ngeri ssente zino gye zibayambye.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Sheikh Mulindwa ng'asaaza Idd e Luweero.

'Gavumenti eyalayidde erwan...

Sheikh Mulindwa ku muzigiti gw'e Kasana Luweero. Ba Samuel Kanyike           DISITULIKITI Khadi wa Luweero,...

Lubega akulembedde ne Amatos ku kkooti e Makindye.

Abaali bafera paasita basin...

ABASUUBUZI b'omu Kampala basindikiddwa mu kkomera lwa kugezaako kufera Paasita ssente ezikunukkiriza mu buwumbi...

Spice Diana asiibuludde aba...

Bya Mukasa Lawrence  ABAYIMBI okuli Spice Diana ne munne Fik Femaika bavuddeyo ne baduukirira abasiraamu ku...

Abakozi ba Rock bavudde mu ...

Bya Phoebe Nabagereka Abakozi mu kampuni ya Roko e Gerenge mu town council ye Katabi bekalakasiza nga balaga...

FDC evumiridde effujjo erik...

Bya Doreen Namaggala AMYUKA ssabawandiisi w'ekibiina ki FDC, Arnold Kaija asabye bannayuganda okukomya okutiisatiisa...