TOP

Abakristaayo baggadde ekkanisa y'e Buwambo

Added 3rd January 2021

Abamu ku Bakristaayo ku kkanisa eyaggaddwa.

Abamu ku Bakristaayo ku kkanisa eyaggaddwa.

ABAKRISTAAYO ku kkanisa ya St. Stephens Church of Uganda e Buwambo mu busumba bwe Kkungu mu Bulabirizi bw'e Namirembe baggadde ekkanisa obutakkiriza muntu yenna kuyingira kusaba nga bawakanya Ssaabandikoni w'e Gayaza, Ven Paul Kabanda Hebert okukyusa omubuuliizi waabwe ate ng'abadde yaakamalawo omwaka gumu.
Abakristaayo nga bakulembeddwa omukubiriza w'ekkanisa eno, Beatrice Namatovu baabadde bawakanya ekya Ssaabadinkoni okukyusa omubuulizi Samuel Natumanya ne bamuteeka mu kkanisa y'e Kirwanira e Matugga.
Baategeezezza nti ekyasinze okubatabula kwe kutwala omubuulizi waabe gye yagabiddwa abaayo ne babamugobya nga bagamba nti tebalina ssente zigenda kumuliisa ne basalawo okumuzza. Nga tebanamutwalayo, baasooka kugenda wa Ssaabadinkoni okumusaba waakiri aleme kukyusa mubuulizi waabwe kyokka ne batamusangayo.
Wano we baasinzidde ne basaba Omulabirizi Luwalira ayingire mu nsonga zino kuba Abakristaayo baggadde
ekkanisa y'e Buwambo. Ssaabadinkoni ono alina engeri gy'atulugunyaamu baweereza banne. Baategeezezza nti Omubuulizi Natumanya ebbanga ly'abadde yaakamala, wadde babadde mu muggalo gwa Covid ataddewo enkulaakulana ku kkanisa eno.
Baasazeewo okuggala ekkanisa nga bagamba nti teri kusaba okutuusa nga be kikwatako bawulirizza ensonga zaabwe. Bino byonna bakira bikolebwa omubuulizi yeesibidde mu nnyumba. Namatovu yagambye nti baagala okumanya ensonga lwaki omubuuliizi baamukyusizza n'agattako nti kirabika waliwo abamulinako empalana ne batafa ku ngeri omuntu gy'akolamu emirimu gye.
Ono era yagambye nti bwe baagenda e Gayaza okusisinkana Ssaabadinkoni Kabanda, yabeekweka era ne bamuwandiikira ebbaluwa bbiri n'ataziddamu nabo kwe kuteekawo embeera eno okutuusa nga be kikwatako bavuddeyo okubayamba.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omuzannyi wa Villa (ku kkono) n'owa Busoga United nga bagoba omupiira mu gwa liigi ogusembyeyo. Baagwa maliri, 1-1.

VILLA ETUNUZZA OMUDUMU MU UPDF

Leero (Lwamukaaga) mu Liigi (10:00); SC Villa - UPDF, Bombo Onduparaka - Vipers, Arua KCCA - Kitara, Lugogo Bright...

Cheptegei ng'ajaganya.

Likodi za Cheptegei zimweyi...

ENJOGERA egamba nti ‘Katonda nga yaakuwadde, n'ennume ezaala' etuukira bulungi ku muddusi Joshua Cheptegei. Ye...

Ivana Ashaba (mu maaso), owa Hippos ng'alemesa owa Burkina Faso okutuuka ku mupiira.

Hippos eyiseemu kavvu

ENKAMBI ya ttiimu y’eggwanga ey’abatasussa myaka 20 (Hippos), yeeyongeddemu ebbugumu, FUFA bwe baawadde doola 80,000...

Ttakisi mu paaka enkadde.

'Bbeeyi y'entambula esusse'

ABABAKA ba palamenti bennyamivu olw’ebisale by’entambula ebyeyongera okulinnya buli lukya ekinyigiriza abasaabaze....

Fr. Kabagira ne Fr. Mubiru nga baganzika ekimuli ku ntaana ya Ssaabasumba Joseph Kiwanuka mu Eklezia e Lubaga.

Bajjukidde Ssaabasumba Kiwa...

ABAKKIRIZA bajjukidde Ssaabasumba Joseph Nakabaale Kiwanuka eyafa nga February 22, 1966 n’aziikibwa mu Eklezia...