
ABATUUZE b'e Makindye basiimye abajaasi ba UPDF okuva mu nkambi ya miritale poliisi e Makindye okubayamba okufuuyira ebiku ebibadde bibabuza otulo.
Diriisa Kawuma ssentebe wa Kanakulya zooni e Katwe agambye ebiku bibadde bisusse okuluma abatuuze nga bangi babadde bamukaabira , ssaako emyala emikyafu ebibadde bisibye obukyafu mu kitundu.


Kawuma agambye nti kubanga abatuuze mu kitundu tebalina ssente kusasula KCCA okutwala kasasiro , olwo basalawo kumusuula mu myala wabula olwaleero bafunye essanyu aba miritale bwe bazze nebayonja ekitundu kyabwe.
UPDF egenda kukuza olunaku lwa TAREHE Sita era emikolo egikulembera ebikujjuko mulimu okukola bulungibwansi nga bwe gubadde leero mu Kanakulya, Nabisaalu, ne Nkere zooni ezisangibwa e Makindye ng'abajaasi beenyigira mu kulongoosa ebintundu.

Bano bafuuyidde ebiku, okugogola emyala, okuyoola kasasiro, n'okugaba obutimba bw'ensiri.
Capt Amos Nsamba omwogezi wa miritale poliisi e Makindye agambye nti kino bakikola okunyweza enkolagana ya UPDF n'omuntu waabulijjo era baakugenda mu maaso mu zooni endala nga bakola bino.