
Bya FLORENCE TUMUPENDE LWENGO
Bano nga bakulembeddwamu Col.William Rubalema basaaye obusiko obuli mu kabuga kano,okuyoola kasasiro n'okugoggola emyala.
Yadde nga amaggye gakola bulungibwansi, tekirobedde abatuuze okusigala nga batudde nga n'abamu balabiddwako nga beewanise waggulu ku bimeeza nga balengera omulimu ogukolebwa.

Oluvannyuma Col. Rubalema asisinkanye abavuzi ba Bodaboda okubakwasa ettu lye babeetikidde wabula ng'ono alabiddwako ng'atabukira aba bodaboda abaze gy'ali nga tebambadde masiki era n'abaako gw'awadde ssente agende mangu okugigula.
Col. Rubalema akuutidde aba bodaboda okwambala masiki n'okwewa amabanga kyokka bw'atuuse ku ky'okuvugisa ekimama agambye nti buba bulamu bwabwe bwe bassa mu matigga n'oluvannyuma n'alagira abasirikale be okubagabira masiki n'obujaketi.

Bo aba bodaboda nga bakulembeddwamu ssentebe waabwe Husein Ssenyonga basiimye ettu eribaweereddwa n'akuutira aba bodaboda abeerimbika mu mirimu gyabwe nga tebalina kaadi okwabulira siteegi nga bukyali kuba be bavuddeko okubavumaganya olw'ebintu by'abasaabaze bye babba.
Wabula amyuka RDC w'e Lwengo, Mariam Nalubega Sseguya asiimye emirimu amagye gye gakoze mu Lwengo omuli okuzimba amalwaliro n'amasomero wabula n'alaga okusoomOozebwa abatuuze kwe balina okw'okukwatibwa endwadde eziva ku bucaafu nga kivudde ku bakulembeze abeesuulideyo ogwa nnagamba mu kusomesa abantu.